LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 3/05 lup. 4
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Laba Ebirala
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Bye Tuyinza Okwogera Nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
km 3/05 lup. 4

Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini

The Watchtower Feb. 15

“Oluusi, tuwulira abagamba nti waliwo ekyamagero ekyakoleddwa. [Waayo eky’okulabirako.] Abantu abamu bakkiriza ebigambo ebyo. Abalala babibuusabuusa. Magazini eno ennyonnyola obanga ebyamagero ebyogerwako mu Baibuli ddala byaliwo era n’ennyonnyola obanga ne leero bisobola okukolebwa.” Soma Yeremiya 32:21.

Awake! Feb. 22

“Mu biseera eby’edda, Katonda yalagira abaana okuwa bazadde baabwe ekitiibwa. [Soma Okuva 20:12.] Olowooza bamaama bassibwamu ekitiibwa ekibagwanira leero? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno ennyonnyola ebizibu bamaama bye bafuna mu nsi nnyingi era n’engeri gye babyaŋŋangamu.”

The Watchtower Mak. 1

“Olowooza ensi yandibadde nnungi singa buli muntu agoberera okubuulirira kuno? [Soma Abaruumi 12:17, 18. Oluvannyuma muleke abeeko ky’addamu.] Eky’ennaku, oluusi n’oluusi abantu bafuna obutakkaanya. Magazini eno ennyonnyola engeri okussa mu nkola okubuulirira kwa Baibuli gye kiyinza okutuyamba ne tumalawo obutakkaanya era ne tuzzaawo emirembe.”

Awake! Mak. 8

“Buli mwaka, obwetaavu bw’amasannyalaze n’amafuta bweyongera. Olowooza kiki ekiyinza okubaawo singa lukya lumu ng’amasannyalaze oba amafuta tebikyaliwo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno ennyonnyola engeri abantu gye banoonyerezza ku ngeri y’okufunamu amasannyalaze nga beeyambisa enjuba oba empewo. Ate era eyogera ne ku nsibuko y’ebintu ebyo ebikola amasannyalaze.” Soma Isaaya 40:26.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza