LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 12/04 lup. 7
  • Ebikulu Okuva mu Mwaka gw’Obuweereza Ogwa 2004

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebikulu Okuva mu Mwaka gw’Obuweereza Ogwa 2004
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
km 12/04 lup. 7

Ebikulu Okuva mu Mwaka gw’Obuweereza Ogwa 2004

Burundi: Mu Agusito baafuna entikko empya ey’ababuulizi 5,459. Abantu nga 13,507 be baayigirizibwa Baibuli buli mwezi. Abaaliwo ku kijjukizo baali 19,612. Mu kaweefube ow’okubuulira mu bifo eby’esudde eyamala emyezi esatu, baatuusa amawulire amalungi mu bifo ebippya era ebibinja bisatu byatandikibwawo mu Busoni, Mabayi, ne Makamba. Burundi yafuna okweyongerayongera kwa butundu 11 ku buli 100.

Eritrea: Wadde nga bali mu mbeera nzibu nnyo, ababuulizi baabulira essaawa nga 14.6 buli mwezi, bapayoniya abawagizi baabuulira essaawa nga 55.7 buli mwezi ate bo bapayoniya aba bulijjo baabulira essaawa nga 75.7 buli mwezi. Abaaliwo ku kijjukizo baali 1,031. Eritrea yafuna okweyongerayongera kwa obutundu 2 ku buli 100.

Kenya: Mu Agusito baafuna entikko empya ey’ababuulizi 19,314. Abaayigirizibwa Baibuli buli mwezi baali nga 30,939 era buli mubuulizi yayigiriza omuntu ng’omu Baibuli buli mwezi. Abaabatizibwa mu mwaka ogwo baali 1,450. Abaaliwo ku kijjukizo baali 53,779. Kenya yafuna okweyongerayongera kwa butundu 5 ku buli 100.

Sudan: Mu Sudan baagaba ebitabo ne brocuwa ebiwerera ddala 46,014 mu mwaka ogwo ogw’obuweereza. Abaaliwo ku Kijjukizo baali 6,126 era ekyo ne kiraga nti balina obusobozi bw’okukulaakulana mu biseera eby’omu maaso. Sudan yafuna okweyongerayongera kwa butundu 4 ku buli 100.

Tanzania: Tanzania yafuna entikko empya ey’ababuulizi 13,416 mu mwezi gwa Agusito era n’okweyongerayongera kwa butundu 7 ku buli 100. Omwaka ogw’obuweereza ogwa 2004 we gwagwerako, abantu abaali bayigirizibwa Baibuli baali 20,462 era n’omuwendo gw’ebibiina n’ebibinja gwali gweyongedde okuva ku 361 okutuuka ku 401! Abaaliwo ku Kijjukizo baali 51,323 kyokka ate ng’abaaliwo mu mwaka ogwayita baali 48,630. Mazima ddala tusuubira okufuna ababuulizi abapya bangi mu mwaka guno ogw’obuweereza.

Uganda: Mu Agusito twafuna entikko empya ey’ababuulizi 3,743. Abaabatizibwa 358 mu mwaka ogw’obuweereza ogwa 2004, basinga ku b’omwaka ogwayita obutundu 29 ku buli 100. Abantu abasukka mu 8,000 be baayigirizibwa Baibuli buli mwezi! Abaaliwo ku kijjukizo baali 13,248, era nga bano baakubisaamu emirundi esatu n’ekitundu entikko y’ababuulizi ey’omwaka ogwo ogw’obuweereza. Uganda yafuna okweyongerayongera kwa butundu 10 ku buli 100.

Ebyo ebiragiddwa waggulu biraga nti ababuulizi beeyongera okugondera ekiragiro ky’omukulembeze waffe, Yesu Kristo, eky’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa. (Mat. 24:14; 28:19, 20) Yakuwa awadde omukisa okufuba kwaffe era tumusiima nnyo olw’okwanguyako omulimu nga tugenda twolekera enkomerero y’enteekateeka y’ebintu eno. (Is. 60:22) Kati twesunga byonna ebitegekeddwa okukolebwa mu mwaka gw’obuweereza ogwa 2005 era tukubiriza buli mubuulizi obutayosa kubuulira.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza