Ebirango
◼ Ekitabo eky’okugaba okuva nga Noovemba 1-14: Kaweefube ow’okugaba akatabo Beera Bulindaala! Noovemba 15-30: Learn From the Great Teacher. Singa abamu bagamba nti tebalina baana, bawe brocuwa Atwetaagisa. Bw’ogaba brocuwa eno, fuba okutandika okuyigiriza abantu Baibuli. Ddesemba: Mugabe ekitabo The Greatest Man Who Ever Lived. Oba mugabe ebitabo ebirala nga The Bible—God’s Word or Man’s, Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli, ne Osobola Okuba Omulamu Emirembe Gyonna mu Lusuku lwa Katonda ku Nsi. Jjanwali 2005: Tuyinza okugaba akatabo konna akamyukiridde akalina empapula 192 oba akalala konna akaakubibwa ng’omwaka 1990 tegunnatuuka, awamu ne New World Translation of the Christian Greek Scriptures mu Luswayiri. Ebibiina ebitalina bitabo bino ebikadde biyinza okugaba Mankind’s Search for God. Febwali 2005: Akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa ke kajja okugabibwa.
◼ Omukadde akubiriza akakiiko k’abakadde oba omuntu omulala gw’aba alonze asaanidde okwekenneenya ebiwandiiko by’embalirira y’ekibiina nga Ddesemba 1 oba oluvannyuma amangu ddala nga bwe kisoboka. Bwe kiba nti waliwo ensawo endala gamba ng’ekwata ku kulabirira ekizimbe oba ekwata ku kuzimba, enteekateeka zirina okukolebwa okwekenneenya ebiwandiiko ebikwata ku nsawo eyo. Nga kino kimaze okukolebwa, mutegeeze ekibiina nga musoma lipoota y’eby’embalirira eddako.
◼ Ebibiina byanditandise okulagiriza emizingo gya Watchtower ne Awake! egya 2004 mu kusaba kwabyo okw’ebitabo okunaddako. Okutuusa ng’emizingo egyo gimaze okuweerezebwa eri ebibiina, ku foomu gijja kulagibwa nti “Teginnakolwako” ku nkalala z’ebitabo ebiweerezebwa eri ebibiina. Emizingo gino giri mu ttuluba ly’ebitabo ebiragirizibwa mu ngeri ey’enjawulo.
◼ Wiiki enneetandika nga Maayi 23, 2005, tujja kusoma brocuwa Beera Bulindaala! mu Kusoma Ekitabo okw’Ekibiina.
◼ Kyetaagisa ofiisi ye ttabi okubeera n’olukalala oluliko endagiriro n’ennamba z’essimu ez’abakadde abakubiriza obukiiko bw’abakadde n’ez’abawandiisi b’ebibiina. Bwe wabaawo enkyukakyuka yonna mu ndagiriro, Akakiiko k’Obuweereza ak’Ekibiina kandijuzizzaamu foomu eyitibwa Presiding Overseer/Secretary Change of Address (S-29), ne kagissaako emikono era ne kagiweereza eri ofiisi y’ettabi amangu ddala. Kino kitwaliramu n’enkyukakyuka mu nnamba y’essimu mu kitundu ekyo.