Essomero Eritendeka Abaweereza n’Abakadde—Omulyango Omugazi Ogutuusa ku Mirimu Emingi
1 Okuyitira mu nnabbi Yeremiya, Yakuwa yagamba: “Era ndissaawo abasumba ku [bantu bange] abalibaliisa; kale nga tebakyatya nate so tebalikeŋŋentererwa, so tewaliba abalibula.” (Yer. 23:4) Leero, omulimu gw’okulunda ekisibo gukolebwa mu mawanga gonna. Gukolebwa enkumi n’enkumi z’abakadde mu kibiina. Ng’oggyeko abo, era waliwo abavubuka bangi ng’omusulo ogw’okumakya abeewaddeyo kyeyagalire okuweereza Yakuwa. (Zab. 110:3) Nga mukisa gw’amaanyi okubeera n’ab’oluganda bano abeetoowaze mu bibiina bya bantu ba Katonda! Olw’okuba wakyaliwo abantu bangi abeeyongera okuyiga amazima, kino kireetawo obwetaavu bw’abasajja abalina ebisaanyizo okwewaayo okuweereza baganda baabwe.
2 Essomero Eritendeka Abaweereza n’Abakadde abali obwannamunigina nteekaateeka nnungi eteekeddwawo okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa obugenda bweyongera. Okuva mu 1987 essomero lino lwe lyatandika, abayizi abassuka mu 22,000 okuva mu nsi 140 bamaze okutendekebwa mu masomero agawerera ddala 999. Eri ab’oluganda bano, essomero libadde ‘omulyango omugazi ogutuusa ku mirimu emingi.’—1 Kol. 16:9.
3 Ekigendererwa ky’Essomero: Kwe kutendeka abasajja abalina ebisaanyizo n’okubawa bye beetaaga okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa wonna awaba obwetaavu mu kibiina. Essomero libabangula basobole okutwala obukulembeze mu mulimu gw’okubuulira, okulunda ekisibo, era n’okuyigiriza mu kibiina. Nga bamalirizza emisomo, abayizi batumibwa okukola nga bapayoniya oba ng’abalabirizi abatambula mu nsi yaabwe oba mu nsi endala. Abalala baweereza mu bibiina byabwe byennyini oba mu bifo awali obwetaavu obw’amaanyi mu kitundu ky’ettabi lye balimu.
4 Wiiki omunaana ze bamala nga batendekebwa, abayizi beekenneenya nnyo Baibuli. N’obwegendereza beekenneenya enjigiriza za Baibuli nnyingi, obuvunaanyizibwa obw’okulunda ekisibo era n’obulagirizi ku ngeri y’okugonjoolamu ebizibu mu kibiina. Era bayiga Ebyawandiikibwa kye byogera ku bukulembeze n’okusala emisango mu kibiina. Batendekebwa mu ngeri ey’enjawulo okuwa emboozi era kinnoomu bafuna okubuulirirwa ku ngeri gye bayinza okukulaakulana mu by’omwoyo.
5 Ebyetaago: Tekiri nti buli omu asobola okuba n’ebisanyizo by’okugenda mu ssomero eryo. Abo abasaba okuyingira mu ssomero balina okuba nga babadde baweereza ng’abakadde oba abaweereza okumala emyaka ebiri. Bonna bateekwa okuba nga si bafumbo era nga bali wakati w’emyaka 23 ne 50. Era balina okuba nga bamanyi okusoma, okuwandiika, okwogera obulungi olulimi essomero mwe likubirizibwa, balamu bulungi, era nga tebeetaaga kulabirirwa oba okuliisibwa mu ngeri ey’enjawulo. Omukisa gusooka kuweebwa abo abaweereza nga bapayoniya aba bulijjo.
6 Abo abeewaayo mu buweereza buno balina okuba abeetegefu okuweereza buli yonna gye baba beetaagibwa. Kino kyetaagisa okuba n’omwoyo ng’ogwa nnabbi Isaaya, eyeewaayo okukola omulimu ogw’enjawulo ng’agamba nti: “Nze nzuuno! Ntuma nze.” (Is. 6:8) Era nnabbi ono yayoleka obuwoombeefu mu bulamu bwe bwonna. Abo abasaba okugenda mu Ssomero Eritendeka Abaweereza n’Abakadde bandikikoze lwa kuba baagala okuweereza baganda baabwe so si kunoonya ttuttumu. Nga bamaze okufuna okutendekebwa okwo okulungi, abayizi basuubirwa okuteeka mu nkola ebyo bye bayize basobole okuganyula abalala.—Luk. 12:48.
7 Emiganyulo: Wiiki omunaana abayizi ze bamala nga batendekebwa, baba ‘baliisibwa ebigambo eby’okukkiriza, n’enjigiriza ennungi.’ (1 Tim. 4:6) Mu ngeri eno baba basobola okuzzaamu amaanyi abo abali mu bibiina byabwe ne mu kitundu mwe biri (circuit). Ebitundu bingi gye bagabye abo abamaze okutendekebwa mu Ssomero Eritendeka Abaweereza n’Abakadde, obuweereza bweyongeddemu amaanyi, omwoyo gw’okuweereza nga payoniya gweyongedde naddala mu bavubuka, era abappya bangi abakuŋŋaana n’abantu ba Katonda bayambiddwa.
8 Oli mukadde oba muweereza ali obwa nnamunigina ng’oli wakati w’emyaka 23 ne 50? Lwaki tolowooza ku kugenda mu Ssomero Eritendeka Abaweereza n’Abakadde? Oli muvubuka alina ekiruubirirwa eky’okuweereza Yakuwa ekiseera kyonna? Lwaki obulamu bwo tobufuula bwangu era nga tebuliimu bikuwugula osobole okuyingira mu ‘mulyango omunene ogutuusa ku mirimu emingi’? Kijja kukuleetera essanyu ery’ensusso n’obumativu. Mazima ddala, Essomero Eritendeka Abaweereza n’Abakadde libadde lya mugaso nnyo si eri abayizi bokka naye era n’eri ebibiina bya bantu ba Katonda mu nsi yonna.
[Akasanduuko akali ku lupapula 3]
Engeri Essomero Gye Lyabaganyulamu
“Essomero linyambye okulongoosa mu buweereza bwange n’obusobozi bwange obw’okulunda ekisibo mu ngeri ey’amagezi nga nkozesa Ebyawandiikibwa.”
“Essomero linnyambye okuba omuvumu nga ntuukiriza obuvunaanyizibwa bwange obw’enjawulo bwe nnina mu kibiina.”
“Essomero likyusizza kumpi buli mbeera ya bulamu bwange nga mw’otwalidde n’endowooza gye nnina ku bufuzi bwa Yakuwa n’ekibiina kye.”
“Okutendekebwa kwe nafuna kwannyamba okulaba obwetaavu bw’okuba omwetegefu okuweereza mu bifo awali obwetaavu.”