Siga mu Bungi Naye n’Obwegendereza
1 Omulimi yenna akimanyi nti singa asiga ensigo ze mu bungi, ajja kukungula mu bungi, naye singa asiga ntono, awatali kubuusabuusa ajja kukungula ntono. (2 Kol. 9:6) Abalimi beegendereza obutasiga nsigo zaabwe ku ttaka kwe zitaabalire. Naffe kitwetaagisa okwoleka obwegendereza bwe bumu nga tugaba ebitabo byaffe mu nnimiro. Ekiruubirirwa kyaffe kwe kulekera ebitabo abo abaagala okubisoma. Twagala abo abagwanira bategeere ekisa kya Yakuwa n’essuubi ly’Obwakabaka.
2 Okisanze nga magazini, brocuwa, n’ebitabo ebirala byetuumye awaka so ng’ate byandikozeseddwa okuyamba abo abagwanidde abali mu kitundu kyo okufuna okumanya okutuufu? (Geraageranya Matayo 25:25.) Oluusi otya okugaba magazini oba akatabo akalala konna ng’obuulira olw’okuba owulira nga kikukwasa ensonyi okunnyonnyola engeri omulimu gw’okubuulira Obwakabaka gye guwagirwamu? Ababuulizi abalina obumanyirivu bakizudde nti abantu abasiima batera okubaako kye bawaayo bwe bannyonnyolwa obutereevu era mu ngeri ennyangu engeri omulimu gw’Obwakabaka gye guwagirwamu.
3 Oyinza okugamba bw’oti:
3◼ “Wandiba nga weebuuza engeri gye tugaba ebitabo awatali kubisasulira. Kino kye kimu ku bikolebwa mu mulimu guno ogw’okuyigiriza ogukolebwa mu nsi yonna era nga guwagirwa mu ngeri y’okuwaayo okwa kyeyagalire. Bw’oba wandyagadde okubaako ky’owaayo okuguwagira, kijja kusiimibwa.”
3 Bangi bayinza okukubuuza ssente obutabo ze bugula.
3 Oyinza okuddamu bw’oti:
4◼ “Ebitabo byaffe tebisasulirwa kubanga omulimu gwaffe guwagirwa mu ngeri y’okuwaayo okwa kyeyagalire. Bw’oba wandyagadde okubaako ky’owaayo, kijja kukozesebwa okuwagira omulimu gw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna.”
4 Oba oyinza okugamba bw’oti:
4◼ “Ebitabo byaffe tubigabira abo bonna ababa baagala okweyongera okuyiga ebikwata ku Baibuli. Bw’oba nga wandyagadde okubaako ky’owaayo okuwagira omulimu guno ogukolebwa mu nsi yonna, nja kukikutuusizaayo.”
5 Ababuulizi abamu bwe baba bagaba magazini babikkula munda ku lupapula olusooka ne bagamba bwe bati:
5◼ “Nga bw’olaba wano, omulimu gwaffe guwagirwa mu ngeri y’okuwaayo okwa kyeyagalire. Bw’oba wandyagadde okubaako ky’owaayo okuwagira omulimu guno, nsobola okukikutuusizaayo.”
5 Waliwo n’engeri endala ennyangu:
5◼ “Wadde ng’ebitabo byaffe tubigabira abantu awatali kubisasulira, tukkiriza ekyo kyonna omuntu ky’awaayo okuwagira omulimu gwaffe ogukolebwa mu nsi yonna.”
6 Tetwandireseeyo kusiga nsigo z’Obwakabaka nga tutya okunnyonnyola engeri omulimu guno gye guwagirwamu. Ate era, tusaanidde okuba abeegendereza tuleme okuleka ebitabo byaffe ku ‘ttaka eriri ku njazi.’ (Mak. 4:5, 6, 16, 17) Abo abasiima amawulire amalungi ge tubatwalira baba basanyufu bwe baweebwa omukisa okubaako kye bawaayo okuwagira omulimu guno.—Geraageranya Matayo 10:42.