LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 6/04 lup. 4
  • Emmere Ey’Eby’Omwoyo Etuukira mu Kiseera Kyayo

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Emmere Ey’Eby’Omwoyo Etuukira mu Kiseera Kyayo
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
  • Laba Ebirala
  • Yakuwa Akuŋŋaanya Abantu Be Abasanyufu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Wuliriza era Oyige
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
km 6/04 lup. 4

Emmere Ey’Eby’Omwoyo Etuukira mu Kiseera Kyayo

1. Ezeekyeri 36:29 lutuukirizibwa lutya leero?

1 “Ndiyita eŋŋaano, ne ngyaza, so siribaleetako njala,” bw’atyo bw’ayogera Mukama Afuga, Yakuwa. (Ez. 36:29) Ebigambo ebyo eby’obunnabbi bikwata ku bantu ba Katonda leero. Mu ngeri ey’akabonero, Yakuwa awadde abantu be emmere nnyingi ebeesaawo obulamu. Emmere ey’eby’omwoyo etuukira mu kiseera kyayo gye tufuna okuyitira mu nkuŋŋaana za disitulikiti eyoleka bulungi ensonga eyo.

2. Yakuwa akozesezza atya enkuŋŋaana za disitulikiti okutuwa emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera kyayo?

2 Ku lukuŋŋaana olunene olwali mu Columbus, Ohio, mu 1931, Yakuwa yasobozesa abamusinza okufuna erinnya eriggya​—Abajulirwa ba Yakuwa. (Is. 43:10-12) Mu 1935 ekibiina ekinene ekyogerwako mu Okubikkulirwa 7:9-17 kyategeerekeka bulungi. Mu 1942, Ow’Oluganda Knorr yawa okwogera okwalina omutwe “Emirembe​—Giyinza Okuba egy’Olubeerera?” Bye yayogera byabakubiriza okwongera amaanyi mu mulimu gw’okubuulira mu nsi yonna era ne kiviirako okutandikawo Essomero lya Watchtower Erya Baibuli ery’e Giriyadi. Wadde ng’enkuŋŋaana ezimu ennene zijjukirwa nnyo okusinga endala, zonna zibaamu emmere ey’eby’omwoyo ezimba etuukira mu kiseera kyayo.​—Zab. 23:5; Mat. 24:45.

3. Kiki kye tuteekwa okukola okusobola okuganyulwa mu mmere ennyingi ey’eby’omwoyo gye tufuna mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti?

3 Ggwe Olya Bulungi? Kisoboka okubeera n’emmere ennyingi naye ate ne tukozimba bwe tutafuba kweriisa. (Nge. 26:15) Bwe kiri ne mu by’omwoyo. Mu nkuŋŋaana ennene ezimu kirabiddwa nti bangi batambulatambula oba banyumya n’abalala nga programu egenda mu maaso. Wadde nga kikulu okunyumya ne baganda baffe mu nkuŋŋaana zino ennene, ekyo kirina kukolebwa nga programu tennatandika oba ng’ewedde. (Mub. 3:1, 7) Singa tuba tetusizzaayo mwoyo tuyinza okusubwa ensonga enkulu. Ab’oluganda abakubiriza olukuŋŋaana oba abalala abalina obuvunaanyizibwa mu bitongole eby’enjawulo oluusi kiyinza okubeetaagisa okwogera ku nsonga ezikwata ku lukuŋŋaana nga programu egenda mu maaso. Naye singa tekiba bwe kityo, banditaddewo ekyokulabirako ekirungi nga bassaayo omwoyo ku programu. Tewali n’omu ku ffe eyandyagadde okusubwa emmere ey’eby’omwoyo etuweebwa.​—1 Kol. 10:12; Baf. 2:12.

4. Tuyinza tutya okulaga nti tusiima emmere ey’eby’omwoyo Yakuwa gy’atuwa?

4 Nga tusanyuka nnyo olw’okufuna emmere ennyingi ey’eby’omwoyo Yakuwa gy’atuwa! Kyokka abo, abali mu Kristendomu bayigirizibwa enjigiriza ez’obulimba. (Is. 65:13, 14) Engeri emu mwe tuyinza ‘okulagira nti tusiima’ emmere eyo ey’eby’omwoyo kwe kutwala enkuŋŋaana ennene ng’enkizo ey’okuyigirizibwa Yakuwa. (Bak. 3:15) Essira toliteeka ku mwogezi naye liteeke ku ebyo by’ayogera era obitwale ng’ebiva eri ‘Omuyigiriza Omukulu.’ (Is. 30:20, 21; 54:13) Ssaayo nnyo omwoyo. Wandiika ensonga enkulu. Buli kawungeezi wejjukanye ensonga enkulu ezibadde mu programu. Ssa mu nkola by’oyiga.

5. Enkuŋŋaana za disitulikiti zituwa nsonga ki okuba abasanyufu?

5 Buli lukuŋŋaana olunene olubaawo nga Kalumagedoni tannatuuka, ka lube mu nkambi y’abanoonyi b’obubudamo, mu nsi etaaguddwataaguddwa entalo, oba mu kifo awali akalembereza, lwoleka nti Setaani awanguddwa! Ng’oluganda olw’awamu, tusiima nnyo enkizo gye tufuna ey’okubeera awamu mu nkuŋŋaana za disitulikiti. (Ez. 36:38) Tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kwongera okutuwa ‘emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera kyayo.’​—Luk. 12:42.

[Akasanduuko akali ku lupapula 4]

Laga nti Osiima Emmere ya Yakuwa Ey’Eby’Omwoyo

◼ Ssaayo nnyo omwoyo

◼ Wandiika ensonga enkulu

◼ Wejjukanye ensonga enkulu buli kawungeezi

◼ Ssa mu nkola by’oyiga

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza