LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 2/04 lup. 1
  • Omulimu Oguwagirwa Katonda

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Omulimu Oguwagirwa Katonda
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
  • Laba Ebirala
  • Enkizo Yo ey’Obuweereza Gitwale nga ya Muwendo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Kya Muwendo Nnyo Okuyigirizibwa Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Weeyongere Okubuulira Ekigambo kya Katonda n’Obuvumu
    Sinza Katonda Omu ow’Amazima
  • “Fubanga Okutuukiriza Obuweereza Bwe Wakkiriza mu Mukama Waffe”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
km 2/04 lup. 1

Omulimu Oguwagirwa Katonda

1 Abaweereza ba Katonda bangi leero tebalina buyigirize bwa waggulu, si bagagga, wadde okuba abatutumufu mu nsi. N’olw’ensonga eyo, abantu abamu tebatwala buweereza bwaffe ng’ekintu ekikulu. (Is. 53:3) Kyokka, omulimu ogw’okuyigiriza abantu Baibuli gwe tukola, guviiriddeko abantu bukadde na bukadde okwetooloola ensi okubudaabudibwa n’okufuna essuubi. Abantu aba bulijjo basobodde batya okutuuka ku kino? Kino kisobose lwa buwagizi bwa Katonda. (Mat. 28:19, 20; Bik. 1:8) “Katonda yalonda ebinafu eby’ensi, akwase ensonyi eby’amaanyi,” bw’atyo omutume Pawulo bwe yannyonnyola.​—1 Kol. 1:26-29.

2 Abatume n’Abakristaayo abalala ab’omu kyasa ekyasooka baali “bantu abatamanyi kusoma era abataayigirizibwa nnyo.” (Bik. 4:13) Kyokka, n’obuvumu baatuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe obw’okubuulira amawulire amalungi, era Yakuwa yabawa emikisa olw’okufuba kwabwe. Wadde nga baayolekagana n’okuziyizibwa, ‘ekigambo kya Katonda kyeyongera amaanyi era ne kiwangula.’ Tewali kyandisobodde kukomya mulimu ogwo, kubanga gwali guwagirwa Katonda. (Bik. 5:38, 39; 19:20) Bwe kityo bwe kibadde ne mu kiseera kino. Wadde nga bannabyabufuzi babadde bamalirivu okuziyiza omulimu ogwo, tebasobodde kukugira mawulire malungi okubuna n’okweyongera.​—Is. 54:17.

3 Ettendo Lyonna Lidda eri Katonda: Okuba nti tulina enkizo ey’okuweereza Katonda kituleetera okwegulumiza? N’akatono. Pawulo yawandiika bw’ati ku buweereza obw’Ekikristaayo: “Obugagga obwo tuli nabwo mu bibya eby’ebbumba, amaanyi amangi ennyo galyoke gavenga eri Katonda so si eri ffe.” (2 Kol. 4:7) Yee, Pawulo yakitegeera nti yasobola okutuukiriza obuweereza bwe olw’amaanyi agaamuweebwa Katonda.​—Bef. 6:19, 20; Baf. 4:13.

4 Mu ngeri y’emu, naffe tukitegeera nti omulimu gw’okubuulira gutuukirizibwa ‘olw’obuyambi Katonda bw’atuwa.’ (Bik. 26:22) Okuyitira mu mulimu guno ogukolebwa mu nsi yonna, Yakuwa atukozesa mu ngeri ey’enjawulo okubuulira amawanga ku kuzikiriza okunaatera okubaawo. (Kag. 2:7) Nga tulina enkizo ya maanyi ‘okukolera awamu ne Katonda’ mu makungula gano ag’eby’omwoyo!​—1 Kol. 3:6-9.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza