Weegendereze Engeri gy’Okozesaamu Ebiseera Byo
1. Kizibu ki abantu bangi kye boolekaganye nakyo leero?
1 Mu kiseera kyaffe omuli ebintu ebingi ebikendeeza ku biseera n’emirimu, bangi beesanga nti balina bingi eby’okukola ng’ate ebiseera balina bitono. Okisanga nga kizibu okunywerera ku nteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo? Muli owulira nti wandyagadde okumala ebiseera ebisingawo mu buweereza? Tuyinza tutya okukozesa ebiseera byaffe mu ngeri esingayo obulungi?—Zab. 90:12; Baf. 1:9-11.
2, 3. Bizibu ki ebireetebwawo tekinologiya w’eby’empuliziganya, era buli omu ku ffe ayinza atya okwekebera?
2 Manya Ebintu Ebyonoona Ebiseera Byo: Buli luvannyuma lwa kiseera, ffenna tusaanidde okukebera engeri gye tukozesaamu ebiseera byaffe. Baibuli etukubiriza: “Kale mutunule nnyo bwe mutambulanga, si ng’abatalina magezi, naye ng’abalina amagezi; nga mweguliranga [ebiseera], kubanga ennaku zino mbi.” (Bef. 5:15, 16) Lowooza ku bizibu ebireetebwa okukulaakulana mu tekinologiya w’eby’empuliziganya. Wadde nga kompyuta n’ebirala ebikozesebwa mu mpuliziganya bya mugaso, biyinza okufuka ekyambika singa tetwegendereza ngeri gye tukozesamu ebiseera byaffe.—1 Kol. 7:29, 31.
3 Buli omu asaanidde okwebuuza: ‘Mala ebiseera buli lunaku nga nsoma oba nga nziramu amabaluwa agataliimu nsa ku Internet? Mala ebiseera nga nkuba essimu oba nga mpeereza obubaka ku ssimu ku nsonga ezitali nkulu? (1 Tim. 5:13) Nkozesa Internet awatali kigendererwa kyonna, oba bwe mba ndaba ttivi mala gaakyusa mikutu nga sirina kigendererwa? Emizannyo gya kompyuta gitutte ebiseera bye nnandimaze nga nsoma Ekigambo kya Katonda?’ Ebintu ng’ebyo biyinza okutuzza emabega mu by’omwoyo.—Nge. 12:11.
4. Nkyukakyuka ki omuvubuka omu ze yakola, era lwaki?
4 Okukozesa Ebiseera mu Ngeri ey’Amagezi: Kompyuta n’ebirala ebikozesebwa mu mpuliziganya bitera okutwala ebiseera n’ebirowoozo byaffe. Omuvubuka omu eyeenyigira ennyo mu mizannyo gya kompyuta agamba nti: “Emirundi egimu bwe nnazanyanga emizannyo gya kompyuta nga sinnagenda mu buweereza oba mu lukuŋŋaana olw’Ekikristaayo, nnakisanga nga kizibu okussaayo omwoyo. Kyenkana buli kiseera nnalowoozanga ku ngeri gye nnandizzanyemu obulungi nga nzizeeyo eka. Okwesomesa ko n’okusoma Baibuli obutayosa byaddirira. Essanyu lyange mu kuweereza Katonda lyatandika okukendeera.” Ng’akitegedde nti yali yeetaaga okukola enkyukakyuka, yasangula emizannyo gyonna egyali ku kompyuta ye. “Ekyo tekyali kyangu,” bw’atyo bwagamba. “Nnali ntwaliriziddwa nnyo emizannyo okusinga bwe nnali ndowooza. Kyokka, muli nnawulira nti ntuuse ku buwanguzi kubanga nnamanya nti nnali nkikoze ku lw’obulungi bwange.”—Mat. 5:29, 30.
5. Tuyinza tutya okugula ebiseera eby’okwenyigira mu bintu eby’omwoyo, era tuganyulwa tutya mu kukola kino?
5 Kiyinza okwetaagisa okukola bw’otyo singa wabaawo obwetaavu bw’okukola enkyukakyuka. Oyinza okugula eddakiika asatu buli lunaku okuva ku bintu ebitali bikulu? Ekyo ky’ekiseera kye weetaaga buli lunaku okusobola okusoma Baibuli yonna mu mwaka gumu. Nga ekyo kijja kukuleetera emikisa mingi nnyo mu by’omwoyo! (Zab. 19:7-11; 119:97-100) Teekawo ebiseera ebikakafu eby’okusoma Baibuli, okuteekateeka enkuŋŋaana, era n’eby’okugenda mu buweereza bw’ennimiro. (1 Kol. 15:58) Okukola kino kijja kuyamba okwewala ebyo ebyonoona ebiseera byo era kijja kukuyamba “okutegeeranga Mukama waffe ky’ayagala.”—Bef. 5:17.