LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 1/04 lup. 3
  • Ebirango

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebirango
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
km 1/04 lup. 3

Ebirango

◼ Ebitabo eby’okugaba mu Ddesemba: The Greatest Man Who Ever Lived. Oba muyinza okubawa akatabo The Bible​—God’s Word or Man’s?, Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli, oba Osobola Okuba Omulamu Emirembe Gyonna mu Lusuku lwa Katonda ku Nsi. Jjanwali: Ebitabo byonna ebyakubibwa ng’omwaka 1988 tegunnatuuka ebiri mu kibiina ne New World Translation of the Greek Scriptures mu Luswayiri. Bwe wabaawo ekitabo kyonna ku ebyo ebyogeddwako waggulu kye mutalina, mubuuze ebibiina ebibaliraanye oba nga birina ebitabo ebyo bibaweeko. Ebibiina ebitalina bitabo bikadde biyinza okugaba akatabo Mankind’s Search for God. Febwali: Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa. Bwe muba nga temukalina, muyinza okugaba akatabo Life​—How Did It Get Here? By Evolution or by Creation? oba Revelation​—Its Grand Climax At Hand! ne New World Translation of the Greek Scriptures mu Luswayiri. Maaki: Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo ne New World Translation of the Greek Scriptures mu Luswayiri. Wajja kubeerawo kaweefube ow’okufuna abayizi ba Baibuli. Abantu bwe baba ng’ekitabo ekyo bakirina, bayinza okuweebwa ekatabo Ssaayo Omwoyo ku Bunnabbi bwa Danyeri! Apuli: Gaba Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Bw’oba ng’oddayo eri abantu abaagala okuyiga ebisingawo, ddayo n’eri abo abaaliwo ku Kijjukizo, oba ku lukuŋŋaana olulala lwonna naye nga tebatera kubaawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina. Fuba okubalekera akatabo Sinza Katonda. Wandifubye okutandika okubayigiriza Baibuli mu katabo ako naddala bwe baba nga baamala dda okusoma akatabo Okumanya oba brocuwa Atwetaagisa.

◼ Okutandika ne wiiki eya Maaki 15, 2004, tujja kusoma akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa mu Lukuŋŋaana lw’Ekibiina olw’Okusoma Ekitabo.

◼ Okutandikira mu Febwali, era obutasukka Maaki 7, emboozi empya abalabirizi b’ebitundu gye bajja okuwa erina omutwe “Mitindo gy’Ani gy’Ogoberera?”

◼ Ebibiina birina okukola enteekateeka ennungi ez’okukwata Ekijjukizo ky’omwaka guno ku Ssande, nga Apuli 4, oluvannyuma lw’enjuba okugwa. Wadde ng’okwogera kuyinza okutandika nga bukyali, obubonero bw’Ekijjukizo tebulina kuyisibwa okutuusa ng’enjuba emaze okugwa. Mubuuze abakola ku mbeera z’obudde mu kitundu kyammwe musobole okumanya ddi enjuba lw’egwa. Okuva bwe watajja kubaawo nkuŋŋaana ndala zonna ku lunaku olwo okuleka ez’obuweereza bw’ennimiro, enteekateeka ennungi zirina okukolebwa okusobola okusoma Omunaala gw’Omukuumi ku lunaku olulala. Abalabirizi b’ebitundu balina okukola enkyukakyuka mu lukyala lwabwe olwa wiiki eyo okusinziira ku nteekateeka y’ekibiina. Wadde nga kyandibadde kirungi buli kibiina okubeera kyokka ku mukolo gw’Ekijjukizo, ekyo kiyinza obutasoboka. Ebibiina ebiwerako bwe biba bikozesa Ekizimbe ky’Obwakabaka kimu, oboolyawo ekibiina ekimu oba ebisingawo biyinza okufuna ekifo ekirala eky’okukozesa akawungeezi ako. Bwe kiba kisoboka, tuwa ekirowoozo nti wandibaddewo ebbanga ery’eddakiika ezitakka wansi wa 40 okuva ku programu emu okudda ku ndala bonna basobole okuganyulwa mu bujjuvu. Era mwandirowoozezza ne wa ebidduka we binaasimba, nga mw’otwalidde n’okuttika era n’okuttikula abasaabaze. Akakiiko k’abakadde kandisazeewo enteekateeka ezinaasinga okuba ennungi mu kitundu kyabwe.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza