Olukuŋŋaana lwa Disitulikiti olw’Abajulirwa ba Yakuwa Olwa “Tambula ne Katonda” mu 2004
1 Kiki ekifuula enkuŋŋaana zaffe ennene ezibaawo buli mwaka okuba ennungi gy’oli? Emboozi ezizimba n’omuzannyo ebitegekebwa ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’? (Mat. 24:45-47) Ebitabo ebippya ebibaamu emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera kyayo? Baganda baffe ne bannyinnaffe abawa ebyokulabirako ebiraga engeri Baibuli gy’ebayambyemu okulongoosa obulamu bwabwe? Alipoota ezikwata ku ngeri omulimu gw’okubuulira Obwakabaka gye gukulaakulanamu mu nsi endala? Okubeera awamu ne bakkiriza bannaffe ab’emyaka egitali gimu? Yee, twesunga nnyo enkuŋŋaana zaffe ennene olw’ensonga ezo era n’endala nnyingi.
2 Beerawo Ennaku Zonna Essatu: Okuyitira mu Musa, Yakuwa yalagira: ‘Mukuŋŋaanye abantu bawulire, era bayige.’ (Ma. 31:12) Okuyitira mu kibiina ky’omuddu omwesigwa era ow’amagezi, Yakuwa atutegekedde programu ey’enjawulo ey’okutuyigiriza ku buli lunaku olw’olukuŋŋaana olunene. Okuva bw’atuyigiriza ‘tuganyulwe ffe kennyini,’ tulina okubaawo ennaku zonna ng’atuyigiriza. (Is. 48:17) Bwe kiba kikwetaagisa okusaba oyo akukozesa okukuwa olukusa okuva ku mulimu, sooka osabe Yakuwa era oluvannyuma otegeeze akukozesa ky’oyagala, ng’ogoberera ekyokulabirako eky’obuvumu ekya Nekkemiya. (Nek. 1:11; 2:4) Ate era, kiba kikolwa kya kwagala okutegeeza ab’omu maka go abatali bakkiriza amangu ddala nga bwe kisoboka ku nteekateeka zo ez’okugenda mu lukuŋŋaana olunene.
3 Eby’Ensula: Okusobola okukwanguyiza, enteekateeka ezikwata ku by’ensula zikoleddwa mu buli kibuga omunaabeera olukuŋŋaana olunene. Ab’oluganda abayambako ofiisi y’ettabi basobola okukukolera enteekateeka ezo singa mukolera wamu nabo. N’olwekyo, salawo nga bukyali ebikwata ku by’ensula gwe n’ab’omu maka go bye mwetaaga, osobole okutegeeza ababikolako ky’oyagala. Bw’oba oyagala kusula mu wooteeri, tegeeza Ekitongole ky’Eby’ensula ssente z’osobola okusasulira buli muntu buli lunaku. Kino kijja kusobozesa okufuna wooteeri ennungi eziri okumpi n’ekifo olukuŋŋaana we lunaabeera ku bisale ebirungi ennyo buli mwaka.
4 Abalina Obwetaavu obw’Enjawulo: Omutume Pawulo yajjukiza ebibiina mu Ggalatiya ‘okukolanga obulungi eri bonna, naye okusingira ddala eri abo be baali obumu mu kukkiriza.’ (Bag. 6:10) Ab’oluganda ne bannyinnaffe abakaddiye, abo abalina obunafu, abazadde abali obwannamunigina, oba abo abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna bayinza obutakusaba kubayamba, naye bayinza okuba n’ebizibu bye beetaaga okuvvuunuka okusobola okubeerawo mu lukuŋŋaana olunene. Osobola ‘okukola ebirungi’ eri abalinga abo era n’obawa obuyambi? Naddala ab’eŋŋanda Abakristaayo n’abakadde balina okumanya embeera y’abantu ng’abo.
5 Singa omubuulizi ajjuzzaamu foomu eyitibwa Special Needs Room Request, Akakiiko k’Ekibiina ak’Obuweereza kajja kugyekenneenya nga kagoberera obulagirizi obugiriko. Basaanidde okukakasa obanga ekyetaago ky’omubuulizi oyo kisobola okukolebwako ekibiina. Enteekateeka eno ekolerwa Bakristaayo bokka abakola obulungi mu kibiina, era abalina abaana abeeyisa obulungi. Singa Ekitongole ky’Eby’Ensula kibaako ne bye kyebuuza ebikwata ku bwetaavu obw’enjawulo obwetaagisa, kijja kutuukirira omuwandiisi w’ekibiina.
6 Okugenda mu Lukuŋŋaana Olulala: Embeera zo ziyinza okukwetaagisa okugenda mu lukuŋŋaana olulala olutali olwo ekibiina kyo lwe kirina okugendamu. Bw’oba weetaaga okumanya ebikwata ku lukuŋŋaana olunene, tuukirira omuwandiisi w’ekibiina kyo. Bw’oba oyagala obuyambi mu kufuna aw’okusula, wandiikira Ekitongole ky’Eby’Ensula eky’olukuŋŋaana olwo era obategeeze kifo kya ngeri ki ky’oyagala.
7 Ku lukuŋŋaana olunene olw’abantu ba Yakuwa olwaliwo emyaka nga 2,500 emabega, Ezera n’Abaleevi banne baasoma Ekigambo kya Katonda era ne bakinnyonnyola eri abantu abaali bakuŋŋaanye. Kiki ekyavaamu? Nekkemiya 8:12 wagamba nti ‘abantu bonna ne beddirayo ewaabwe nga basanyufu nnyo kubanga baali bategedde ebigambo ebibabuuliddwa.’ Tetuli basanyufu nnyo okuba nti abaafukibwako amafuta ab’ekibiina ky’omuddu, okufaananako Ezera n’Abaleevi, bakozesa Ekigambo kya Katonda, bakinnyonnyola, era ne batulaga n’engeri y’okukikozesa mu bulamu bwaffe? Mu kukola kino, omuddu oyo ayoleka okwagala kwa Yakuwa okwa nnamaddala n’okufaayo kw’alina eri abantu be bonna. Fuba okubeerawo ennaku zonna ez’Olukuŋŋaana lwa Disitulikiti Olwa “Tambula ne Katonda”!
[Akasanduuko akali ku lupapula 3]
Ebiseera bya Programu
Olwokutaano n’Olwomukaaga
3:30 ez’oku makya - 11:10 ez’olweggulo
Ssande 3:30 ez’oku makya - 10:05 ez’olweggulo
[Akasanduuko akali ku lupapula 4]
Engeri gy’Oyinza Okuwagiramu Enteekateeka z’Eby’Ensula
◼ Goberera amateeka agayamba okuziyiza obubenje bw’omuliro.
◼ Saba okukukwatira ebisenge ebyo byokka by’onookozesa.
◼ Okukakasa nti okwatirwa ebisenge ebyo, beera mwetegefu okusasulako ku ssente singa wooteeri eyo ebeera ekyetaagisa. Bw’otakola bw’otyo, wooteeri eyinza okugabira ekisenge kyo omuntu omulala.
◼ Twala ebisenge bye wasooka okusaba.
◼ Tofumbira mu kisenge singa kiba tekikkirizibwa.