Okunoonya Abo Abasaanira
1 Obulagirizi bwa Yesu obukwata ku mulimu gw’okubuulira buleetawo okusoomooza. Yagamba: ‘Buli kibuga kye munaayingirangamu, oba mbuga, munoonyeengamu omuntu bw’ali asaanira.’ (Mat. 10:11) Leero, ng’abantu beeyongera okumala ebiseera bitono nnyo awaka, tuyinza tutya okukola omulimu guno obulungi?
2 Weekenneenye Ekitundu ky’Obuuliramu: Okusookera ddala, weekenneenye ekitundu ky’obuuliramu. Ddi abantu abasinga obungi lwe babeera awaka? Bayinza kusangibwa wa mu budde obw’emisana? Waliwo olunaku mu wiiki oba essaawa mu lunaku lwe bayinza okuba abeetegefu okuwuliriza amawulire amalungi? Okukyusa mu biseera eby’obuweereza bwo ne bituukagana n’embeera z’abantu mu kitundu kyo kiyinza okukusobozesa okufuna ebibala.—1 Kol. 9:23, 26.
3 Ababuulizi bangi bafunye ebibala nga babuulira mu budde obw’oku makya n’olw’eggulo. Abantu abamu baba bakkakkamu era nga beetegefu okuwuliriza mu biseera ng’ebyo. Engeri endala ez’okubuuliramu abantu amawulire amalungi kwe kukola mu bitundu eby’obusuubuzi ne mu bifo ebya lukale.
4 Mu mwezi ogwalimu kaweefube ow’enjawulo, ekibiina ekimu ky’akola enteekateeka ez’okubuulira ku Lwomukaaga ne Ssande olw’eggulo era ne ku Lwokusatu n’Olwokutaano akawungeezi. Era baakola enteekateeka okubuulira mu kitundu eky’obusuubuzi. Enteekateeka zino zaabakumamu nnyo omuliro mu buweereza ne kiba nti ekibiina kyasalawo okuzitwala mu maaso.
5 Nyiikirira Okukola Okuddiŋŋana: Bwe kiba nga kizibu mu kitundu kyo okusanga abantu awaka ng’ozzeeyo okubakyalira, ku nkomerero ya buli lukyala nga mw’otwalidde n’olukyala olusooka, gezaako okulagaana nabo ekiseera ekikakafu ky’oyinza okuddayo okubayigiriza. Era, kakasa nti oddayo mu kiseera kyennyini kye muba mulagaanye. (Mat. 5:37) Bwe kiba kyetaagisa, saba omuntu gw’osanze awaka ennamba y’essimu ye. Kino nakyo kiyinza okukuyamba okwogera n’omuntu oyo omulundi omulala.
6 Bwe tufuba okunoonya abasaanira era ne tuddayo okubayamba okukulaakulana, mazima ddala kijja kuviirako Yakuwa okutuwa emikisa.—Nge. 21:5.