Okwejjukanya Mu Ssomero Ly’omulimu Gwa Katonda
Ebibuuzo ebiddirira bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Ddesemba 29, 2003. Omulabirizi akubiriza essomero ajja kukubiriza essomero mu ddakiika 30 nga lyesigamiziddwa ku ebyo ebyasomebwa okuva mu wiiki eya Noovemba 3 okutuuka nga Ddesemba 29, 2003. [Eby’okwetegerezebwa: Bwe watabaawo kijuliziddwa oluvannyuma lw’ekibuuzo, kijja kukwetaagisa okukola okunoonyereza okukwo okusobola okufuna eky’okuddamu.—Laba ekitabo Ministry School, emp. 36-7.]
ENSONGA EZ’OKWOGERAKO
1. Lwaki kikulu nnyo okukozesa Baibuli mu buweereza bw’ennimiro? [be lup. 145 kat. 2, akasanduuko]
2. Ennyiriri eziriraanyewo zikwata zitya ku ngeri ekyawandiikibwa gye kyanjulwamu? [be lup. 149]
3. Lwaki kikulu okuggumiza ebigambo ebituufu ng’osoma ekyawandiikibwa, era kino kiyinza kukolebwa kitya? [be lup. 151 kat. 2, akasanduuko]
4. Tuyinza tutya okussa mu nkola okubuulirira kwa Pawulo ‘okw’okukozesa obulungi ekigambo eky’amazima’ nga tuyigiriza abalala, era lwaki kino kikulu nnyo? (2 Tim. 2:15, NW) [be lup. 153 kat. 2, akasanduuko]
5. Pawulo ‘yannyonnyola atya abantu ebyawandiikibwa’? (Bik. 17:2, 3, NW) [be lup. 155 kat. 5–lup. 156 kat. 1]
EMBOOZI 1
6. Bwe tukozesa Baibuli, ekitabo kyaffe ekikulu eky’okunoonyerezaamu nga tuteekateeka emboozi, lwaki kikulu (1) Okwetegereza ennyiriri eziriraanyewo, (2) okukebera ebyawandiikibwa ebirala ebyogera ku nsonga y’emu, (3) n’okukebera mu Bible concordance? [be lup. 34 kat. 3–lup. 35 kat. 2]
7. Obwesigwa obwa nnamaddala bulagibwa butya, era bulagibwa eri ani? [w01 10/1 emp. 22-3]
8. Kiki ekiraga nti Yakuwa akuumira ddala ebiseera? (Dan. 11:35-40; Luk. 21:24) [si lup. 284 kat. 1]
9. Bintu ki bye twandirowoozezaako nga tusalawo ensonga ez’okukozesa mu mboozi yaffe oluvannyuma lw’okukola okunoonyereza? [be lup. 38]
10. Lwaki ekyo Yesu kye yayogera ekikwata ku “nnaku za Nuuwa” kituukirawo ne mu kiseera kyaffe? (Mat. 24:37) [w01 11/15 lup. 31 but. 3-4]
OKUSOMA BAIBULI OKWA BULI WIIKI
11. Ebbaluwa ya Pawulo eri Firemooni eraga etya nti omulimu gw’Omukristaayo kwe kuyamba abalala okufuuka Abakristaayo so si okulongoosa embeera yaabwe? (Fir. 12)
12. Njawulo ki eriwo wakati ‘w’okuwaba,’ “okuva ku Katonda,” ‘n’okugwa’? (Beb. 2:1; 3:12; 6:6) [w99 7/15 lup. 19 kat. 12; w86 6/1 lup. 14 but. 16-17; w80 12/1 lup. 23 kat. 8]
13. Tuyinza tutya okwewala okufuula ebigambo ‘Yakuwa bw’aba ayagadde’ ng’ebitali bikulu? (Yak. 4:15) [cj lup. 171 but. 1-2]
14. Kitegeeza ki ‘okulindirira olunaku lwa Yakuwa mu birowoozo,’ era ekyo tuyinza kukikola tutya? (2 Peet. 3:12) [w97 9/1 emp. 19-20]
15. Kulabula ki okukulu ennyo eri Abakristaayo leero okusangibwa mu bubaka eri ebibiina omusanvu ebyogerwako mu Okubikkulirwa essuula 2 ne 3? (Kub. 2:4, 5, 10, 14, 20; 3:3, 10, 11, 17, 19)