Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Noovemba: Katonda Atwetaagisa Ki? oba Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo. Abantu bwe baba ng’ebyo babirina, bayinza okuweebwa brocuwa Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwaawo—Olizudde? oba akatabo Sinza Katonda Omu Ow’Amazima oba ekitabo kyonna ekikadde. Ddesemba: The Greatest Man Who Ever Lived. Oyinza n’okubawa Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli, The Bible—God’s Word or Man’s?, oba Osobola Okuba Omulamu Emirembe Gyonna mu Lusuku lwa Katonda ku Nsi. Jjanwali: Ebitabo byonna ebyakubibwa ng’omwaka 1988 tegunnatuuka ebiri mu kibiina. Era mugabe ne New World Translation of the Christian Greek Scriptures mu Luswayiri. Bwe wabaawo ekitabo kyonna ku ebyo ebyogeddwako waggulu kye mutalina, mubuuze ebibiina ebibaliraanye oba nga birina ebitabo ebyo bibaweeko. Ebibiina ebitalina bitabo bikadde biyinza okugaba akatabo Mankind’s Search for God. Febwali: Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa. Bwe muba nga temukirina, muyinza okugaba akatabo Life—How Did It Get Here? By Evolution or by Creation? oba Revelation—Its Grand Climax At Hand!
◼ Akubiriza akakiiko k’abakadde oba omuntu omulala gw’aba alonze asaanidde okwekenneenya ebiwandiiko by’embalirira y’ekibiina nga Ddesemba 1 oba oluvannyuma amangu ddala nga bwe kisoboka. Nga kino kimaze okukolebwa, mukirange eri ekibiina oluvannyuma lw’okusoma lipoota y’eby’embalirira eddako.
◼ Ebibiina byanditandise okulagiriza emizingo gya The Watchtower ne Awake! egya 2003 nga biwaayo okusaba kwabyo okw’ebitabo okunaddako. Olukalala olulaga ennimi ebintu ebyo mwe ziri lujja kubeera mu “Kirango Eri Ebibiina Byonna,” ekiweerezebwa eri ebibiina byonna buli mwezi. Okutuusa ng’emizingo egyo gimaze okufulumizibwa era nga giweerezeddwa eri ebibiina, ku foomu gijja kulagibwa nti “Teginnakolwako” ku nkalala z’ebitabo ebiweerezeddwa eri ebibiina. Emizingo giri mu ttuluba ly’ebitabo ebiragirizibwa mu ngeri ey’enjawulo.
◼ Omuwandiisi wa buli kibiina alina okulaba nti ebiwandiiko ebikwata ku mpapula eziraga obwanannyini bw’Ekizimbe ky’Obwakabaka ziri mu mbeera nnungi. We kisaanira, kakasa nti ebiwandiiko byonna ebikwata ku kuggibwako obuvunaanyizibwa obw’okusasula busuulu weebiri mu fayiro.
◼ Ceeke bw’ekolebwa okuwagira omulimu gw’ensi yonna oba ogw’Okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka era n’eteekebwa mu kasanduuko mu Kizimbe ky’Obwakabaka, ceeke eyo erina okugattibwa ku foomu eyitibwa S-20 era n’eweerezebwa ku ttabi lya ofiisi.