“Mweteeketeeke”
1 Mu bunnabbi bwe obukulu obukwata ku nkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu, Yesu yalabula ku kwemalira ennyo ku bintu by’obulamu bwa bulijjo. (Mat. 24:36-39; Luk. 21:34, 35) Olw’okuba ekibonyoobonyo ekinene kiyinza okubalukawo essaawa yonna, twetaaga okussaayo ennyo omwoyo ku kubuulirira kwa Yesu kuno: “Mweteeketeeke, kubanga mu kiseera kye mutamulowoolezaamu Omwana w’omuntu ky’ajjiramu.” (Mat. 24:44) Kiki ekiyinza okutuyamba okweteekateeka?
2 Okwaŋŋanga Ebyeraliikiriza n’Ebiwugula: Ogumu ku mitego gwe tulina okwekuuma mu by’omwoyo kwe ‘kweraliikiriranga eby’obulamu.’ (Luk. 21:34) Mu nsi ezimu, obwavu, ebbula ly’emirimu, n’ebintu okugula obuwanana bikifuula kizibu okufuna ebyetaago by’obulamu. Kyokka, mu nsi endala si kizibu okwetuusaako ebintu ng’ebyo. Singa tutandika okussa ennyo essira ku kufuna ebintu, kiyinza okutulemesa okukulembeza ebikwata ku Bwakabaka. (Mat. 6:19-24, 31-33) Enkuŋŋaana ez’Ekikristaayo zituyamba okukulembeza eby’Obwakabaka. Okifudde kiruubirirwa kyo okubeerawo mu nkuŋŋaana zonna obutayosa?—Beb. 10:24, 25.
3 Leero ensi erimu ebintu bingi ebiwugula ebiyinza okutumalako ebiseera bye twandikozesezza ku bintu eby’omugaso. Okukozesa kompyuta kiyinza okufuuka ekyambika singa omuntu amala ebiseera bingi ku Internet, ng’asoma era ng’asindika amabaluwa, oba ng’azannya emizannyo gyakwo. Ebiseera bingi biyinza okwonoonebwa mu kulaba ttivvi, firimu, ku bintu ebikolebwa mu kiseera eky’eddembe, eby’emizannyo, n’okusoma ebitabo by’ensi, ne kiba nti tetulina biseera na maanyi kwenyigira mu bya mwoyo. Wadde ng’okwesanyusaamu n’okuwummulamu bituzzaamu endasi, okwesomesa Baibuli era n’okugisoma ng’amaka bireetawo emiganyulo gya lubeerera. (1 Tim. 4:7, 8) Owaayo ebiseera okufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda buli lunaku?—Bef. 5:15-17.
4 Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti ekibiina kya Yakuwa kituteereddewo enteekateeka ey’eby’omwoyo okutusobozesa “okudduka ebyo byonna ebigenda okubaawo, n’okuyimirira mu maaso g’Omwana w’omuntu”! (Luk. 21:36) Ka ffenna tweyambise mu bujjuvu enteekateeka zino era ‘tube beeteefuteefu,’ okukkiriza kwaffe kusobole ‘okutuviiramu ettendo n’ekitiibwa n’okugulumizibwa ku kubikkulibwa kwa Yesu Kristo.’—1 Peet. 1:7.