LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 7/03 lup. 1
  • Okusiima Obusaasizi bwa Katonda

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okusiima Obusaasizi bwa Katonda
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Laba Ebirala
  • ‘Kitammwe Musaasizi’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Tuweereza Katonda “ow’Okusaasira Okungi”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Buulira Amawulire Amalungi Agakwata ku Kisa eky’Ensusso
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Okusiima Ekisa eky’Ensusso Katonda Kye Yatulaga
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
km 7/03 lup. 1

Okusiima Obusaasizi bwa Katonda

1 Nga tannafuuka Mukristaayo, omutume Pawulo yaziyiza nnyo Obukristaayo. Kyokka, olw’okuba ekyo yakikola mu butamanya, yalagibwa obusaasizi. Yakuwa yalaga Pawulo ekisa eky’ensusso era n’amuwa omulimu ogw’okubuulira. Pawulo yatwala omulimu ogwo nga gwa muwendo. (Bik. 26:9-18; 1 Tim. 1:12-14;) Okusiima obusaasizi bwa Yakuwa kwakubiriza Pawulo okunyiikira okutuukiriza obuweereza bwe.​—2 Kol. 12:15.

2 Olw’obusaasizi bwa Katonda, naffe tuweereddwa obuweereza. (2  Kol. 4:1) Okufaananako Pawulo, tusobola okulaga nti tusiima obusaasizi obutulagiddwa nga tufuba okuyamba abalala okukulaakulana mu by’omwoyo. Engeri emu gye tuyinza okukikolamu kwe kufuna be tuyigiriza Baibuli.

3 Okufuna b’Oyigiriza Baibuli: Engeri emu ey’okufunamu b’oyigiriza Baibuli kwe kukola enteekateeka ey’okutwaliranga abantu magazini obutayosa. Nga tukyalira abo abatwala magazini obutayosa, tweyongera okubamanya ekisingawo era n’ebyo bye balowoozaako ennyo. Oluvannyuma lw’ekiseera, oyinza okukozesa ekitundu ekimu mu magazini okwogera ku nteekateeka ey’okuyiga Baibuli mu brocuwa Atwetaagisa. Emirundi emirala gy’oba ozzeeyo okumutwalira magazini, oyinza okweyongera okukubaganya naye ebirowoozo mu brocuwa Atwetaagisa.

4 Okusaba n’Okufuba Kwetaagisa: Okusaba awamu n’okufuba bitusobozesa okulongoosa mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira. Mwannyinaffe akola nga payoniya eyalina omuyizi omu owa Baibuli yasaba Yakuwa afuneyo abalala era yakolera ku ekyo kye yasaba. Bwe yeekenneenya obuweereza bwe yakizuula nti yali tategeeza bantu ku nteekateeka ey’okubayigiriza Baibuli ng’azzeeyo okubakyalira. Yatandika okukola ekyo era mangu ddala yafuna abayizi ba Baibuli abalala babiri.

5 Nga tulina enkizo ya maanyi okumanyisa ‘amawulire amalungi ag’ekisa kya Katonda eky’ensusso’! (Bik. 20:24) Okusiima kwe tulina olw’obusaasizi Katonda bw’atulaze, ka kutukubirize okufuba okuyamba abalala okuganyulwa mu kisa kye eky’ensusso.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza