LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 4/03 lup. 9
  • Akasanduuko K’ebibuuzo

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Akasanduuko K’ebibuuzo
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Laba Ebirala
  • Ebikwata ku Ricardo ne Andres
    Zuukuka!—2019
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
km 4/03 lup. 9

Akasanduuko K’ebibuuzo

◼ Kulabula ki kwe twandigoberedde nga tubuulira abasibe?

Mu nsi yonna, mulimu abasibe obukadde nga munaana, ng’abamu ku abo basiima amawulire amalungi. (1 Tim. 2:4) Ofiisi y’ettabi emu efuna amabaluwa nga 1,400 buli mwezi, nga gava mu basibe oba eri ab’omu maka gaabwe, nga basaba ebitabo oba okubakyalirako ewaabwe. Wadde ng’abasibe abasinga obungi beesimbu, ebibaddewo biraga nti abamu ku bo beefuula abaagala okusoma Baibuli ng’ate baagala bwagazi kwefunira bintu okuva mu bantu ba Katonda. Olw’ensonga eyo ffenna tusaanidde okukolera ku kulabula okuddirira nga tubuulira mu makomera.

Ebiseera ebisinga obungi tubuulira mu makomera nga tuwandiika amabaluwa. Bannyinaffe tebalina kuwandiikira basibe basajja ka kibe nti balina ekiruubirirwa eky’okubayamba mu by’omwoyo. Obuvunaanyizibwa buno bwandiweereddwa ab’oluganda abalina ebisaanyizo. Bannyinaffe abalina ebisaanyizo n’abo basobola okuwandiikira abasibe abakazi. Ssente oba ebirabo tebirina kuweerezebwa mu makomera, wadde ng’oluusi abasibe bayinza okubisaba.

Omusibe bw’aba ng’ayagala okumanya ebisingawo, erinnya lye n’endagiriro ye birina okuweerezebwa eri ekibiina ekiri mu kitundu omuli ekkomera eryo. Ebiseera ebisinga, ab’oluganda ababeera mu bitundu ebyo baba bamanyi engeri y’okukwatamu ensonga eziyinza okubalukawo. Mu kitundu ekyo bwe mutabaamu kibiina, endagiriro n’erinnya birina okuweerezebwa ku ofiisi y’ettabi.

Si kibi ab’oluganda abaweereddwa obuvunaanyizibwa okusomesa abasibe abawerako mu kiseera kye kimu bwe kiba kikkirizibwa. Emikolo egy’enjawulo ng’ababuulizi bakolagana kyeere n’abasibe tegirina kutegekebwa mu kkomera. Ate era, si kya magezi babuulizi kukyalirakyalira basibe n’okukola nabo omukwano ogw’oku lusegere.

Kale, ka tube ‘b’amagezi ng’emisota kyokka abatali bakuusa ng’amayiba’ nga tubuulira abasibe amawulire amalungi.​—Mat. 10:16.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza