Ebirango
◼ Ebitabo by’okugaba mu Jjanwali: Ekitabo kyonna eky’empapula 192 ekyakubibwa ng’omwaka 1988 tegunnatuuka ekiri mu kibiina. Ebibiina ebitalina bitabo ebyo ebikadde biyinza okugaba Mankind’s Search for God oba Revelation—Its Grand Climax At Hand! Febwali: Ekitabo ekippya Draw Close to Jehovah kye kijja okugabibwa. Ebibiina ebitannaba kufuna kitabo kino, biyinza okukozesa ekitabo Creation oba Revelation Climax. Maaki: Gaba Akatabo Okumanya, ng’ofuba okufuna abayizi ba Baibuli. Apuli ne Maayi: Gaba Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Bw’oba ozzeeyo eri abantu abaagala okuyiga ebisingawo, balekere akatabo Sinza Katonda Omu ow’Amazima. Fuba nga bw’osobola okufuna abayizi ba Baibuli naddala bwe kiba nti abamu baamala dda okusoma akatabo Okumanya oba brocuwa Atwetaagisa.
◼ Okutandika ne Febwali era obutasukka nga Maaki 2, emboozi ya bonna empya ey’abalabirizi b’ebitundu ejja kuba “Okununulibwa mu Nsi ey’Ekizikiza.”
◼ Ebibiina birina okukola enteekateeka ennungi ez’okukwata Ekijjukizo ky’omwaka guno ku Lw’Okusatu, nga Apuli 16, oluvannyuma lw’enjuba okugwa. Newakubadde ng’okwogera kuyinza okutandika nga bukyali, obubonero bw’Ekijjukizo tebulina kuyisibwa okutuusa ng’enjuba emaze okugwa. Mwebuuze ku bakugu abakola ku mbeera z’obudde ab’omu kitundu kyammwe okumanya ddi enjuba lw’egwa. Ebibiina ebiwerako bwe biba bikozesa Ekizimbe ky’Obwakabaka kimu, oboolyawo ekibiina ekimu oba ebisingawo biyinza okufuna ekifo ekirala eky’okukozesa akawungeezi ako. We kiba kisoboka, tuwa ekirowoozo nti wandibaddewo ebbanga ery’eddakiika ezitakka wansi wa 40 okuva ku programu emu okudda ku ndala bonna basobole okuganyulwa mu bujjuvu. Era mwandirowoozezza ne ku bidduka we binaasimba, nga mw’otwalidde n’okuttika oba okuttikula abasaabaze. Akakiiko k’abakadde kandisazeewo enteekateeka ezinaasinga obulungi mu kitundu kyabwe.
◼ Okutandika n’omwezi guno, Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka tekajja kubeerangamu nkalala z’ebitabo ebippya ebiriwo. “Ekirango eri Ebibiina Byonna” ekirimu enkalala ezo kijja kuweerezebwanga mu bibiina byonna buli mwezi. Era tubajjukiza nti bwe mufuna “Ekirango eri Ebibiina Byonna,” kirina okusomebwa mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza oluddako ekibiina kisobole okumanya ebitabo ebippya ebiriwo. Oluvannyuma, ekirango ekyo kiyinza okutimbibwa mu kifo awatimbibwa ebirango. Oluvannyuma lw’ekyo, omuweereza akola ku bitabo ajja kukiteeka mu fayiro ye.