LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 6/02 lup. 6
  • Beera Mumativu n’Ebyo by’Olina

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Beera Mumativu n’Ebyo by’Olina
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
  • Laba Ebirala
  • Osobola Okufuna Obugagga!
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Noonya Bwakabaka, So Si Bintu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Oyinza Otya Okuba n’Endowooza Entuufu Ekwata ku Ssente?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
km 6/02 lup. 6

Beera Mumativu n’Ebyo by’Olina

1 Ebyawandiikibwa bitukubiriza okulabirira ab’omu maka gaffe, naye kino si kye kisaanidde okubeera ekintu ekisingayo obukulu mu bulamu bwaffe. Eby’omwoyo bye biteekwa okukulembera. (Mat. 6:33; 1 Tim. 5:8) Si kyangu okutuukiriza buli kimu nga bwe kisaanidde okubeera mu ‘biseera bino eby’okulaba ennaku.’ (2 Tim. 3:1) Naye kiki ekinaatuyamba?

2 Beera n’Endowooza ya Baibuli: Ekigambo kya Katonda kitulabula nti okuluubirira eby’obugagga kiyinza okutuleetera ebizibu mu by’omwoyo. (Mub. 5:10; Mat. 13:22; 1 Tim. 6:9, 10) Mu kiseera kino eky’akazigizigi, kyandibadde kya kabi nnyo omuntu yenna ku ffe, okwemalira ennyo ku mirimu oba ku kunoonya ensimbi, kyokka eby’omwoyo​—gamba nga okubeerawo mu nkuŋŋaana, okweyigiriza n’obuweereza​—ne tubissa mu kifo eky’okubiri. (Luk. 21:34-36) Okwawukana ku ekyo, Baibuli etulabula: “Bwe tuba n’emmere n’eby’okwambala, ebyo binaatumalanga.”​—1 Tim. 6:7, 8.

3 Ekyo tekitegeeza nti Abakristaayo basaanidde kubeera baavu. Naye, okubuulirira okwo kutuyamba okumanya ebyetaago byaffe eby’omubiri, kwe kugamba emmere, okwambala n’aw’okusula. Bwe tubeera ne bye twetaaga mu bulamu, tetwandiruubiridde kufuna bintu birala oba ebisingayo obulungi, kyokka nga tetubyetaaga. Bwe tuba tulina kye twagala okugula oba nga twagala okufuna omulimu omulala, kyandibadde kirungi okusooka okwebuuza, ‘Ddala ekintu kino kyetaagisa?’ Singa tukola bwe tutyo, kijja kutuyamba okugoberera okubuulirira okwaluŋŋamizibwa: “Mubeerenga n’empisa ey’obutaagalanga bintu; bye mulina bibamalenga.”​—Beb. 13:5.

4 Bwe twesiga Yakuwa, ajja kutuyamba. (Nge. 3:5, 6) Wadde nga tulina okukola n’amaanyi okusobola okufuna bye twetaaga buli lunaku, tetwemalira nnyo ku bintu ebyo. Ka tube nga tulina bitono oba bingi, Yakuwa gwe twesiga okusobola okufuna bye twetaaga. (Baf. 4:11-13) N’ekiva mu ekyo, tubeera bamativu era tufuna n’emikisa emirala mingi.

5 Koppa Okukkiriza kw’Abalala: Omuzadde ali obwannamunigina eyali akuliza muwala we mu mazima, yalekayo ebintu ebyali bikaluubiriza obulamu bwe. Wadde nga yalina amaka ge agaali amalungi, yasalawo okugenda abeere mu nnyumba entonotono. Kino kyamusobozesa okukendeeza ku ssaawa ze yali amala ku mulimu gwe era ne kimusobozesa okuwaayo ebiseera ebisingawo mu buweereza. Oluvannyuma nga muwala we akuze era ng’afumbiddwa, maama oyo yasalawo okuwummula emirimu gye newakubadde nga yali tannaba kutuusa myaka gya kuwummula, era ng’ekyo kyakendeeza ennyingiza ye. Mwannyinaffe oyo kati amaze emyaka musanvu ng’aweereza nga payoniya ow’ekiseera kyonna era teyejjusa olw’okuba yeerekereza ebintu n’akulembeza Obwakabaka mu bulamu bwe.

6 Omukadde omu ne mukyala we baakola obwa bapayoniya okumala emyaka mingi ng’ate eno bwe bakuza abaana baabwe abasatu. Ng’amaka, baayiga okubeera abamativu n’ebyo bye baali beetaaga mu kifo ky’ebyo bye baali baagala. Ow’oluganda agamba: “Twalekayo ebintu ebyakalubyanga obulamu bwaffe. Wadde nga ebiseera ebimu tubadde n’ebizibu, Yakuwa abadde atuwa ebyo bye twetaaga. . . . Bwe ndaba engeri ab’omu maka gange gye bakulembezaamu eby’omwoyo, muli mpulira nga ddala buli kimu kigenda bulungi era ekyo kindeetera obumativu.” Mukyala we ayongerako ng’agamba: “Bwe ndaba omwami wange ng’anyiikirira eby’omwoyo, mpulira nga ndi mumativu.” N’abaana basanyufu nnyo olw’okuba bazadde baabwe baasalawo okuweereza Yakuwa ekiseera kyonna.

7 Abo bonna abasalawo okwemalira ku Katonda mu kifo ky’okuluubirira ebintu, Baibuli ebasuubiza ebintu bingi mu kiseera kino ne mu biseera eby’omu maaso.​—1 Tim. 4:8.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza