Okukkiriza Kwaffe Kutukubiriza Okwenyigira mu Bikolwa Ebirungi
1 Okukkiriza kwaviirako Nuuwa, Musa, ne Lakabu okubaako ne kye bakolawo. Nuuwa yazimba eryato. Musa yeesamba eby’amasanyu eby’akaseera obuseera ebyali mu lubiri lwa Falaawo. Ate Lakabu yakweka abakessi era n’agondera ebiragiro byabwe, bw’atyo n’awonya ab’omu maka ge. (Beb. 11:7, 24-26, 31) Leero, okukkiriza kwaffe kutukubiriza kwenyigira mu bikolwa ki ebirungi?
2 Okubuulira: Okukkiriza kutukubiriza okwogera ku Katonda waffe ow’ekitalo wamu n’enteekateeka gy’atukoledde okufuna essanyu emirembe gyonna. (2 Kol. 4:13) Olumu, tuyinza okutya okubuulira amawulire amalungi. Naye bwe ‘tuteeka Yakuwa mu maaso gaffe buli lunaku,’ tuddamu amaanyi ne tulekera awo okutya. (Zab. 16:8) Mu ngeri eyo, okukkiriza kwaffe kutukubiriza okubuulira amawulire amalungi eri ab’eŋŋanda zaffe, baliraanwa, be tukola nabo, be tusoma nabo, n’abalala, buli we tufunira akakisa.—Bar. 1:14-16.
3 Okukuŋŋaana Awamu: Okubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa kye kikolwa ekirala ekirungi ekiva mu kukkiriza. Mu ngeri ki? Bwe tubaawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo kiraga nga tukkiriza nti Yesu ali naffe okuyitira mu mwoyo gwa Katonda omutukuvu. (Mat. 18:20) Kyoleka nti twagala ‘okuwulira omwoyo ky’agamba ekibiina.’ (Kub. 3:6) Tutwala okuyigiriza kwe tufuna okubeera okukulu kubanga amaaso gaffe ag’okukkiriza gatuyamba okutegeera nti oyo atuyigiriza ye Muyigiriza waffe omukulu, Yakuwa.—Is. 30:20.
4 Ebyo Bye Tusalawo: Okukkiriza n’amaanyi ebyo ebitalabika, kitukubiriza okukulembeza eby’omwoyo mu bulamu bwaffe. (Beb. 11:1) Kino kitwaliramu okwerekereza emikisa gy’okufuna ebintu. Ng’ekyokulabirako, omukadde omu yagaana ekifo ekyandimuleetedde okufuna ssente ezisingawo, kubanga aba kukikkiriza kyandimuviiriddeko obutabangawo mu nkuŋŋaana ezimu, obutaba na ba mu maka ge okumala ekiseera, n’okulekera awo okuweereza nga payoniya. Naffe ka tuteeke obwesige bwaffe bwonna mu kisuubizo kya Baibuli nti Yakuwa ajja kulabirira abo ‘abasooka okunoonya obwakabaka bwe n’obutuukirivu bwe.’—Mat. 6:33.
5 Abalala basobola okulaba okukkiriza kye kukoze ku bulamu bwaffe. Mu butuufu, okukkiriza kwaffe kumanyiddwa mu nsi yonna. (Bar. 1:8) N’olwekyo, ffenna ka tukirage nti okukkiriza kwaffe kulamu nga twenyigira mu bikolwa ebirungi.—Yak. 2:26.