Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Apuli ne Maayi: Magazini Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Bw’osanga ayagala okumanya ebisingawo mu kuddiŋŋana, subscription eyinza okumuweebwa. Mugabire akatabo Okumanya oba brocuwa Atwetaagisa, ng’olina ekigendererwa ky’okutandika okumuyigiriza Baibuli mu maka ge. Jjuuni: Katonda Atwetaagisa Ki? oba Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo. Essira mulisse ku kufuna be muyigiriza Baibuli mu maka gaabwe. Jjulaayi: Emu ku brocuwa eziddirira ez’empapula 32 eyinza okukozesebwa: Ddala Katonda Afaayo Gye Tuli?, Nyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, “Look! I Am Making All Things New,” Should You Believe in the Trinity?, The Divine Name That Will Endure Forever, Gavumenti Eneereeta Olusuku lwa Katonda ku Nsi, Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa?, What Is the Purpose of Life—How Can You Find It?, ne When Someone You Love Dies. Brocuwa A Book for All People, Our Problems—Who Will Help Us Solve Them?, Emyoyo gy’Abafu—Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri? ne Will There Ever Be a World Without War?, n’akatabo Emyoyo Egitalabika—Gituyamba Oba Gitulumya? biyinza okugabibwa we kisaana.
◼ Okutandika ne Apuli, kaadi z’olukuŋŋaana lwa district olwa 2001 eziri mu Oluremeniya, Lufalansa, Lukyayina Lungereza, Luswayiri n’Oluyonaani zijja kuweerezebwa wamu n’ebitabo. Tekijja kwetaagisa kuziragiriza. Okusinziira ku bunene bwa buli kibiina, kaadi zijja kuweerezebwa nga ziri mu buganda bwa 25. Bwe kiba nti ekibiina kyetaaga kaadi endala, zirina okusabibwa ku Foomu Okusabirwa Ebitabo (S-14). Kyetaagisa okulagiriza obupiira ku lw’abo bonna mu kibiina ababwetaaga okutekamu kaadi.
◼ Emboozi ey’okusatu n’ey’okuna mu “Nteekateeka y’Essomero lya Teyokulase eya 2001” za kuva mu katabo Reasoning mu mpapula n’ebitundu ebiba biragiddwa. Bw’oba obala ebitundu mu kitabo, obutundu obw’okusoma bwe bwo bwokka obulina olunyiiriri olusooka nga luyingiddeko munda.
◼ Kampeyini yaffe eya buli mwaka ey’okukola mu bitundu ebyesudde ewala ejja kubaawo mu myezi gya Jjulaayi ne Agusito. Ebibiina bijja kuweebwa ebitundu ebyesudde eby’okukolamu mu myezi egyo. Ebibiina ebirina okusaba okw’enjawulo okw’ebitundu ebyesudde biyinza okuwandiikira ofiisi nga Maayi 15, 2001 terunnatuuka. Ekibiina kyonna ekitaweereddwa kitundu ekyesudde eky’okubuuliramu kiyinza okukola enteekateeka ez’okubuulira mu kitundu kyakyo ekitatera kubuulirwamu.
◼ Kyetaagisa Sosayate okukuuma Ebiwandiiko ebituufu ebikwata ku ndagiriro n’ennamba z’essimu ez’abakadde abakubiriza akakiiko k’abakadde n’ez’abawandiisi. Bwe wabaawo enkyukakyuka yonna, omuwandiisi yandijuzizzaamu era n’aweereza foomu eyitibwa Presiding Overseer/Secretary Change of Address (S 29) ku Sosayate amangu ddala. Kino kitwaliramu enkyukakyuka mu ndagiriro n’ennamba y’essimu mu kitundu ekyo.
◼ Abawandiisi b’ekibiina basaanidde okubeera ne foomu ezimala okusabirwa okukola nga payoniya owa bulijjo (S 205) n’eza bapayoniya abawagizi (S 205b). Zino ziyinza okusabibwa ku foomu okusabirwa ebitabo (S 14) Beera n’ezinaamala omwaka gwona. Weekenneenye foomu okusabirwa okukola nga bapayoniya aba bulijjo okakase nti zijjuziddwamu bulungi. Bwe kiba nti abasabye okukola nga bapayoniya tebasobola kujjukira lunaku lwa mwezi lwe baabatirizibwako, bandiruteeberezza era ne balukuuma mu buwandiike.
◼ Ekitabo Isaiah’s Prophecy—Light for All Mankind I nga kiri mu nnukuta ennene kitegekebwa olw’okuganyulwa abo abalina obuzibu mu kulaba. Ekitabo kino ekyenkana magazini mu bugazi kijja kubaamu empapula 512 nga tekiriimu bifaananyi, era obunene bwakyo bwenkanakana n’enkyusa za The Watchtower ez’ennukuta ezirimu ebitundu bibiri eby’okusoma. Kijja kufunibwa mu Lungereza lwokka mu kiseera kino. Ennimi endala zijja kulangibwa nga zifunise. Zino ziyinza okulagibwa ku foomu okusabirwa ebitabo nga Isaiah’s Prophecy 1-Large Print.
◼ Okutandika ne wiiki ya Jjulaayi 30, 2001, tujja kusoma Isaiah’s Prophecy—Light For All Mankind I mu kuyiga kw’ekitabo okw’ekibiina.
◼ Buli lw’okola enteekateeka z’okutambulako nga zirimu okubeera mu nkuŋŋaana z’ekibiina, mu lukuŋŋaana lw’ekitundu, oba olwa district mu nsi endala, okusaba kw’okutegezebwa ebikwata ku nnaku z’omwezi, ebiseera, n’ekifo awanaabeera olukuŋŋaana kuteekwa okuweerezebwa ku ofiiisi y’ettabi erabirira omulimu mu nsi eyo. Endagiriro za ofiisi z’amattabi ziri ku lukalala oluli ku lupapula olusembayo ku kitabo Yearbook ekyakafulumizibwa.
◼ Ebitabo Ebippya Ebiriwo:
A Book for All People—Luswayiri
Bible Topics for Discussion—Luhamuhariki
Isaiah’s Prophecy—Light for All Mankind I—Luhamuhariki
Yakuwa—y’Ani? (Tulakiti Na. 23)—Luswayiri
Jehovah’s Witnesses—Who Are They? What Do They Believe?— Lukyayina Olugonzeddwamu (Lupinyini), Luwalabu
Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo—Lukyayina Olugonzeddwamu (Lupinyini)
Obulamu mu Nsi Empya ey’Emirembe (Tulakiti Na. 15)—Lubari
Pay Attention to Daniel’s Prophecy!—Luswayiri, Lutigirinya
Sing Praises to Jehovah (Ennyimba 29)—Luhindi
The Divine Name That Will Endure Forever—Lutigirinya
Gavumenti Eneereeta Olusuku lwa Katonda ku Nsi—Lulundi
The Greatest Man Who Ever Lived—Lutigirinya
The Guidance of God—Our Way to Paradise—Lubengali, Lugujarati, Luhudu
Watch Tower Publications Index 1997—Lufalansa
Watch Tower Publications Index 1998—Lufalansa
Watch Tower Publications Index 1999—Lufalansa
Katonda Atwetaagisa Ki?— Luganda Lukyayina Olugonzeddwamu (Lupinyini), Luo, Luswayiri (Olw’e Kongo), Luteeso, Lutoolo, Luzande
Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda!—Luhudu
◼ Entambi za Vidiyo Empya Eziriwo:
Noah—He Walked With God—Lukyayina (Mandarini), Luwalabu