Okwejjukanya kw’Essomero ly’Obuweereza Bwa Teyokulase
Okwejjukanya ebibadde mu Ssomero ly’Obuweereza bwa Teyokulase okuva mu wiiki eya Jjanwali 1 okutuuka Apuli 23, 2001. Kozesa olupapula olulala okuwandiikako eby’okuddamu mu bibuuzo bingi nga bw’osobola mu kiseera ekikuweereddwa.
[Weetegereze: Mu kwejjukanya kuno, Baibuli yokka y’eyinza okukozesebwa mu kuddamu ebibuuzo. Ebitabo ebijuliziddwa oluvannyuma lw’ebibuuzo bya kweyambisibwa ng’onoonyereza. Olupapula n’akatundu The Watchtower w’ejulizibwa biyinza obutalagibwa.]
Bino ebiddirira ddamu nti Kituufu oba Kikyamu:
1. Wadde tetusaanidde kukkiriza nneewulira zaffe okutulemesa okulaba okwonoona okw’amaanyi, tuyinza okukoppa ekyokulabirako kya Yusufu ne tusonyiwa omuntu eyatukola ekibi eyeenenyezza. (Lub. 42:21; 45:4, 5) [w99 1/1 lup. 31 but. 2-3]
2. Ng’oggyeko ennyiriri z’obuzaale ezikirimu, 1 Ebyomumirembe kiddiŋŋana buddiŋŋanyi ebiri mu kitabo kya Samwiri n’ekya Bassekabaka. [si lup. 75 kat. 1]
3. Baibuli eyogera ku ‘awakanya Kristo’ omu yekka, ajja okulabika mu biseera eby’omu maaso. [rs lup. 32]
4 . Yesu yalaga obwetoowaze bwe yakkiriza omulimu ogw’enjawulo okuva mu ggulu n’ajja ku nsi n’afuuka omuntu owa wansi ku bamalayika. (Baf. 2:5-8; Beb. 2:7) [w99 2/1 lup. 6 kat. 3]
5. Obulumbi bwa Sisaki ku Yuda n’okunyaga “obugagga obw’omu nnyumba ya Mukama n’obugagga obw’omu nnyumba ya kabaka” bukakasibwa abakugu abeekenneenya ebikwata ku bantu ab’edda. (2 Byom. 12:9) [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba w88 2/1 lup. 26 kat. 4.]
6. Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka tebaabatizanga baana bawere. [rs lup. 55]
7. Omuntu asaanidde okuweereza Katonda nga tasuubira kufuna mpeera yonna. [w99 4/15 lup. 16 kat. 1]
8. Mu kwogera ku “bikolwa” bya Yakuwa, nga bwe kiri mu Zabbuli 103:2 (NW), Dawudi yali ategeeza ebitonde bya Yakuwa ebirabika. [w99 5/15 lup. 21 kat. 5-6]
9. Yeekaalu ezaazimbibwa Sulemaani, Zerubbaberi, ne Kerode, awamu n’eweema eyazimbibwa Musa, byonna bikiikirira ekintu kimu. [si lup. 87 kat. 16]
10. Ennyiriri z’obuzaale ezisangibwa mu 1 Ebyomumirembe tezaali za muganyulo eri ekibiina Ekikristaayo ekyasooka. [si lup. 78 kat. 23]
Ddamu ebibuuzo bino ebiddirira:
11. Lwaki Yakuwa yasalira ennyumba ya Akabu omusango ogw’amaanyi? (1 Bassek. 16:31; 2 Bassek. 9:7, 26) [si lup. 74 kat. 34]
12. Nga bwe kiragibwa mu Matayo 24:45-51, abafuuka bakyewaggula beeyisa batya? [rs lup. 35]
13. Kintu ki ekikulu ekikwata ku maanyi kye tuyinza okuyigira ku ebyo ebyatuuka ku Kabaka Uzziya owa Yuda? (2 Byom. 26:15-21) [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba w99 12/1 lup. 26 but. 1-2.]
14. Mu kifo ky’okuba nti yatandikawo kalombolombo, kya kuyiga ki ekikulu Yesu kye yatuteerawo bwe yanaaza ebigere by’abatume be? (Yok. 13:4, 5) [w99-E 3/1 lup. 31 kat. 1]
15. Lwaki ebyogerwako mu 1 Ebyomumirembe 14:8-17 byali bikulu nnyo mu kiseera kya Isaaya, era lwaki byandibadde bikulu eri Kristendomu leero? (Is. 28:21) [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba w91-E 6/1 lup. 21 but. 2-3.]
16. Biki ebyafuula okusinza Baali okusikiriza ennyo eri Abaisiraeri bangi? [w99 4/1 lup. 29 but. 3-6]
17. Kintu ki eky’omuganyulo ekiyinza okuyigibwa okuva ku mulimu gwa Keezeekiya ogw’okukuuma n’okwongera ku mazzi g’omu Yerusaalemi? (2 Byom. 32:3, 4) [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba w96 8/15 lup. 6 but. 1-2.]
18. Ekyokulabirako kya Yosiya kiyinza kitya okukubiriza abavubuka okuweereza Katonda era n’okuziyiza okusinza okw’obulimba? (2 Byom. 34:3, 8, 33) [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba w90-E 8/1 lup. 5 kat. 2.]
19. Abayudaaya bonna abaasigala mu Babulooni tebaali beesigwa, era kintu ki eky’omuganyulo ekiyinza okuyigibwa mu kino? (Ezer. 1:3-6) [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba w86 1/15 lup. 8 but. 4, 7.]
20. Ebivuga n’ennyimba byayoleka ki Yakuwa bwe yajjuza ennyumba ye n’ekire nga yeekaalu etongozebwa? (2 Byom. 5:13, 14) [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba w94-E 5/1 lup. 10 kat. 7.]
Wa ekigambo oba ebigambo ebyetaagibwa okumalayo mu bujjuvu ebigambo ebiddirira:
21. Oyo abuulirira Mukristaayo munne ateekwa okukakasa nti by’ayogera byesigamiziddwa ku ․․․․․․․․ agava eri Katonda, so si ku ․․․․․․․․ oba ․․․․․․․․. bw’abantu. (Kol. 2:8) [w99 1/15 lup. 22 kat. 1]
22. Tekijja kusoboka obutabaako ․․․․․․․․ lw’owagira ku lutalo lwa ․․․․․․․․ (Mat. 12:30; 2 Bas. 1:8) [rs lup. 48]
23. Ng’amaggwa bwe gayinza okuziyiza endokwa okukula, ․․․․․․․․ okungi era n’obulimba ․․․․․․․․ biyinza okulemesa omuntu okukulaakulana mu by’omwoyo. (Mat. 13:19, 22) [w99 3/15 lup. 22 kat. 5]
24. ‘Okubatizibwa olw’ekigendererwa eky’okubeera abafu,’ nga Pawulo bwe yagamba mu 1 Abakkolinso 15:29 (NW), kitegeeza okuyingira ekkubo ly’obulamu erituusa omuntu ․․․․․․․․ okufaananako Kristo era n’ ․․․․․․․․ mu bulamu obw’omwoyo nga ye. [rs lup. 57]
25. Omukristaayo ow’amazima okusobola okutuuka ku buwanguzi mu ebyo Sulemaani bye yalemererwa, ateekwa okwewala ․․․․․․․․ oba ․․․․․․․․ mu kusinza kwe era alina okugoberera ebigambo bya ․․․․․․․․ ‘okwagalanga Yakuwa Katonda we n’omutima gwe gwonna.’ (Mat. 22:37; 1 Byom. 28:9) [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba w86 6/1 lup. 19 but. 17-18.]
Londako eky’okuddamu ekituufu mu bigambo ebiddirira:
26. Ebiri mu 2 Bassekabaka 17:5, 6 biraga engeri (Tigulasupireseri; Salumaneseri V; Esaladoni) gye yalumbamu obwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi obwali mu mambuka era n’azingiza Samaliya okumala emyaka esatu, oluvannyuma ne kiwambibwa Abasuuli mu (740; 607; 537) B.C.E. [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba w88 2/15 lup. 27 kat. 1.]
27. Ng’ettottola ebyaliwo mu Yerusaalemi ng’obuwaŋŋanguse bw’e Babulooni butandise, 2 Bassekabaka essuula 25 eraga butereevu nti (Danyeri; Ezeekyeri; Yeremiya) ye yawandiika ekitabo ekyo era nti okuwandiika kwaggwa awo nga mu mwaka (580; 537; 455) B.C.E. (2 Bassek. 25:27) [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba si lup. 64 kat. 3.]
28. Nga bwe kiragibwa mu Okuva 4:11 (NW), Yakuwa Katonda ‘ye akola omuzibe w’omumwa, kiggala, oyo alaba obulungi, n’omuzibe w’amaaso’ mu ngeri nti (y’anenyezebwa olw’obulema abantu bwe balina; y’agabira abantu ab’enjawulo enkizo ez’obuweereza; akkirizza obulema okubaawo ku mibiri gy’abantu). [w99 5/1 lup. 28 kat. 2]
29. Ekiseera eky’emyaka 70 ekyogerwako mu 2 Ebyomumirembe 36:17-23 kyaggwaako mu (537; 607; 677) B.C.E. [si lup. 84 kat. 35]
30. Emirundi ebiri gyokka ebijaguzo by’amazaalibwa lwe byogerwako mu Baibuli (ekifaananyi kye biweebwako kirungi, ekifaananyi kye biweebwako kibi; tewali kyonna kitangaazibwa ku bijaguzo by’amazaalibwa). (Lub. 40:20-22; Mat. 14:6-10) [rs lup. 68]
Kwataganya ebyawandiikibwa ebiddirira n’ebigambo ebiweereddwa wammanga:
Kuv. 21:22, 23; Nge. 25:11; Bar. 12:2; 2 Peet. 3:15, 16; Kub. 16:13, 14
31. Okufuba kwetaagisa okusobola okukyusa endowooza yaffe n’okujjuza ebirowoozo byaffe n’amazima agava eri Katonda. [w99-E 4/1 lup. 22 kat. 2]
32. Ng’obuulirira, kikulu okulonda ebigambo ebisaana. [w99 1/15 lup. 23 kat. 1]
33. Yakuwa akiraga nti omuntu avunaanibwa omusango ng’akoze eky’akabi ku mwana atannazaalibwa. [rs lup. 25]
34. Setaani Omulyolyomi asindiikiriza amawanga mu mbeera ejja okugatuusa mu lutalo ne Katonda. [rs lup. 48]
35. Okunyoolanyoola Ebyawandiikibwa bituukane n’endowooza zaffe kisobola okutuviiramu akabi ak’enkalakkalira. [rs lup. 65]