LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 11/00 lup. 2
  • Kiki ky’Ogamba ku Kyuma Ekyanukula ku Ssimu?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Kiki ky’Ogamba ku Kyuma Ekyanukula ku Ssimu?
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • Laba Ebirala
  • “Ebiro eby’Okulaba Ennaku”—Tuyinza Tutya Okubyaŋŋanga?
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
  • Lwaki Nsaanidde Okugenda mu Nkuŋŋaana ku Kingdom Hall?
    Abavubuka Babuuza
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okukubiriza Abantu Okujja mu Nkuŋŋaana
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
  • Okuwa Obujulirwa nga Tukozesa Essimu kya Muganyulo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
km 11/00 lup. 2

Kiki ky’Ogamba ku Kyuma Ekyanukula ku Ssimu?

Essimu ngeri nnungi nnyo ey’okukozesa okuwa obujulirwa abantu abatayinza kusangibwa waka oba ababeera mu bifo ebitayinza kutuukibwamu. Kyokka, abantu bangi tebaanukula ssimu​—ekyuma ekyanukula kye kibaddiramu. Kino bwe kibaawo, kiki ky’oyinza okukola? Essimu togizaako. Mu kifo ky’ekyo, beera n’eky’okuddamu ekitegekeddwa obulungi ky’owandiise ky’oyinza okusomera ku ssimu. Weegezeemu okukikola mu ddoboozi eddungi mu ngeri ey’okunyumya. Kiki ky’oyinza okwogera?

Oyinza okuyita nnyinimu okubeerawo mu Lukuŋŋaana lwa Bonna olunaddako ku Kingdom Hall. Oyinza okugamba “Nsaaliddwa nnyo obutakusanga waka. Bw’oba wandyagadde okuwulira emboozi [omutwe gw’emboozi ya bonna] eyeesigamiziddwa ku Baibuli, nkusaba ojje ku Kingdom Hall y’Abajulirwa ba Yakuwa. Abantu bonna baanirizibwa. Tewali sente zisoloozebwa.” Oluvannyuma lw’ekyo mubuulire olunaku n’esaawa olukuŋŋaana we lubeererawo, era mutegeeze ekkubo Kingdom Hall kw’eri oba munnyonnyole ekifo w’esangibwa.

Weetegereze abappya bonna abayinza okubeerawo mu lukuŋŋaana, weeyanjule gye bali, era baanirize bulungi. Teweerabira kubategeeza ku nteekateeka ey’okubayigiriza Baibuli awaka awatali kusasula!

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza