Ssaayo Ebirowoozo ku Bikolwa bya Katonda eby’Ekitalo
1 Okumala ennaku ennungi satu, twali mu Lukuŋŋaana lwa District Olwa “Abakolera ku Kigambo kya Katonda.” Ebirowoozo byaffe twabijja ku bintu ebibaawo mu bulamu ne twemalira ku bikolwa bya Yakuwa eby’ekitalo. Programu yategekebwa okwongera ku kukkiriza kwe tulina mu Katonda n’Ekigambo kye, okunyweza enkolagana yaffe naye, era n’okwongera ku bunyiikivu bwaffe mu buweereza. Tuganyulwa tutya okuva ku bintu bye twayigirizibwa?—Yok. 13:17.
2 Amaka Mugondere Ekigambo kya Katonda: Symposium “Gondera Ekigambo kya Katonda” yatuyamba okwekenneenya embeera ey’eby’omwoyo ey’amaka gaffe. Abaana baagala okuyiga. Bwe kityo, Abazadde abatya Katonda baakubirizibwa okufuula okuyiga kwa Baibuli okw’amaka omusingi ogw’okuzimba amaka amanywevu mu by’omwoyo. Emitwe gy’amaka bangi bayiga n’abaana baabwe brocuwa empya Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda! Kino kijja kubayamba okukulaakulanya enkolagana ey’essanyu era ey’emirembe ne Yakuwa. Abazadde, muyigirize abaana bammwe engeri y’okussaayo ebirowoozo ku nneewulira za Katonda. Mulage okwagala kwe mulina gy’ali n’ebikolwa bye. (Zab. 103:2) Mukolere wamu okussaawo n’okutuukiriza ebiruubirirwa eby’omwoyo era n’okwenyigira mu bujjuvu mu kuweereza Yakuwa.
3 Ekigambo kya Katonda Kimulisa Ekkubo Lyaffe: Twasanyuka nnyo okufuna ekitabo ekippya Isaiah’s Prophecy—Light for All Mankind I. Otuuse wa mu kusoma omuzingo guno ogusoose? Ekitabo kya Isaaya kiragula ku musango ogw’amaanyi ogusaliddwa eri amawanga agatatya Katonda awamu n’emikisa gy’Obwakabaka emirungi eri abantu ba Katonda. (Is. 34:2; 35:10) Era kizimba okukkiriza n’obwesige mu Yakuwa era n’engeri gy’akolamu ebintu.—Is. 12:2-5.
4 Bw’oba osoma Isaiah’s Prophecy I, osobola okukitegeera okuviira ddala ku ntandikwa engeri Isaaya gye yakuumamu obugolokofu bwe eri Yakuwa wadde ng’obubi bwali bumwetoolodde. Bwe yayitibwa okubeera omubaka wa Katonda, Isaaya yaddamu: “Nze nzuuno ntuma nze.” (Is. 6:8) Okufumiitiriza ku mwoyo gwe yalina ogw’okwewaayo kyeyagalire kijja kukubiriza okweyongera okubuulira amawulire amalungi, nga weenyiigira mu bujjuvu mu kuwa ‘obujulirwa mu mawanga gonna.’—Mat. 24:14.
5 Bwe tussaayo ebirowoozo ku bikolwa bya Yakuwa kijja kulaga obukulu bwe. N’olwekyo, enkizo ey’okubeera akolera ku kigambo kya Katonda gitwale nga ya muwendo!