Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Agusito: Emu ku brocuwa zino ez’empapula 32 eyinza okukozesebwa: Ddala Katonda Afaayo Gye tuli?, Gavumenti Eneereeta Olusuku lwa Katonda, Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa?, Nyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, Should You Believe in the Trinity?, The Divine Name That Will Endure Forever, What Is the Purpose of Life—How Can You Find It?, ne When Someone You Love Dies. Brocuwa A Book for All People, Our Problems—Who Will Help Us Solve Them?, Emyoyo gy’Abafu—Gisobola Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?, ne Will There Ever Be a World Without War? ziyinza okugabibwa we kisaanidde. Era n’obutabo Ebigambo Bino Ebirungi eby’Obwakabaka ne Emyoyo Egitalabika buyinza okukozesebwa mu mwezi guno. Ssebutemba: Revelation—Its Grand Climax At Hand. Okitobba: Obutabo Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Nga tuzzeeyo bwe tusanga abaagala okumanya ebisingawo, tuyinza okubakolera enteekateeka ey’okufuna subscription. Okutandikira ku nkomerero y’omwezi, tulakiti Amawulire g’Obwakabaka Na. 36, “Olwasa Oluppya—Osuubira Ki mu Biseera eby’Omu Maaso?,” ejja kugabibwa. Noovemba: Okugaba tulakiti Amawulire g’Obwakabaka Na. 36 kujja kweyongera. Ebibiina ebinaaba bimalirizza okukola mu kitundu kyabwe nga batuukirira abantu mu buli maka ne tulakiti Amawulire g’Obwakabaka Na. 36 bayinza okugaba brocuwa Atwetaagisa oba akatabo Okumanya. Abantu bwe babeera ng’ebyo baamala dda okubifuna, ekitabo Okuba Omulamu oba Creation kiyinza okukozesebwa.
◼ Omukadde akubiriza akakiiko k’abakadde oba omuntu omulala gw’aba alonze asaanidde okwekenneenya ebiwandiiko by’embalirira y’ekibiina nga Ssebutemba 1 oba amangu ddala nga bwe kisoboka oluvannyuma. Nga kino kimaze okukolebwa, mukirange eri ekibiina oluvannyuma lw’okusoma lipoota y’eby’embalirira eddako.
◼ Ebibiina byanditandise okulagiriza 2001 Calendar of Jehovah’s Witnesses nga bisaba ebitabo mu Ssebutemba. Kalenda zino zijja kufunika mu Luhindu, Olufalansa, Olukyayina, Olungereza, n’Oluwalabu.
◼ Foomu ezimala ez’okukozesebwa mu mwaka gw’obuweereza ogwa 2001 zijja kuweerezebwa eri buli kibiina. Musabibwa okukozesa obulungi foomu zino. Zirina kukozesebwa ku kigendererwa kyokka ekyazikubisa.
◼ Okuva nga Agusito 25, 2000, okutuuka nga Agusito 26, 2000, Sosayate ejja kuba ebala ebitabo ebiriwo mu Beseri. Olw’okubala kuno, tewali kusaba bitabo kwa bibiina okujja okukolwako oba okukimwayo mu nnaku ezo.
◼ Ebitabo Ebiriwo:
Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo—Luswayiri
Katonda Atwetaagisa Ki?—Luswayiri