LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 2/00 lup. 1
  • “Buulira Ekigambo . . . mu Bwangu”

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • “Buulira Ekigambo . . . mu Bwangu”
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • Laba Ebirala
  • Buulira n’Obunyiikivu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Ennimiro Zituuse Okukungula
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
  • Mubeere Abakunguzi Abasanyufu!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Buulira n’Obunyiikivu!
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
km 2/00 lup. 1

“Buulira Ekigambo . . . mu Bwangu”

1 Singa ofuna ekintu ekiriko ebigambo nti “KYA MANGU,” wandikitutte otya? Ebigambo “kya mangu” bitegeeza nti “ekintu kyetaagisa okukolebwako amangu ddala.” Ng’alina ensonga ennungi, omutume Pawulo yalagira Abakristaayo ‘okubuulira ekigambo mu bwangu.’ (2 Tim. 4:2, NW) Oyanukula omulanga ng’omulimu guno ogukola mu bwangu?

2 Kyandiba nga Pawulo yali ategeezeddwa nti abamu ku baganda be baali batandise ‘okugayaalirira omulimu gwabwe’ ng’Abakristaayo. (Bar. 12:11, NW) Kino kyakendeeza ebibala ebiva mu mulimu gwabwe awamu n’essanyu lye bandifunye nga bayamba abantu abalala.

3 Endowooza Yesu Gye Yalina eri Obuweereza: Nga Yesu yafuna essanyu lingi mu buweereza bwe! Yagamba: “Eky’okulya kyange kwe kukolanga eyantuma by’ayagala n’okutuukiriza omulimu gwe.” Ekyokulabirako kya Yesu kyazzaamu amaanyi abayigirizwa be, be yakubiriza ng’abagamba nti ‘ennimiro zituuse okukungula.’ (Yok. 4:34, 35) Okwagala okukola omulimu mu bwangu kwe yalaga mu buweereza bwe bwonna kweyoleka bwe yagamba abayigirizwa be ‘okusaba omwami w’eby’okukungula asindike abakozi mu by’okukungula bye.’ (Mat. 9:38) Yesu yakitegeera nti omulimu gwe gwali gwa kubuulira, era yali mumalirivu obutaleka kintu kyonna okumuwugula okuva ku ekyo.

4 Kiri Kitya Gye Tuli? Leero, omulimu gw’okubuulira gulina okukolebwa amangu okusinga bwe kyali kibadde. Mu bitundu bingi eby’ensi, ennimiro zituuse okukungula. Ne mu nsi ezirabika nga ziweereddwamu nnyo obujulirwa, nkumi na nkumi babatizibwa buli mwaka. Ng’enkomerero y’embeera zino ez’ebintu esembera mangu, waliwo “eby’okukola bingi mu mulimu gwa Mukama waffe.” (1 Kol. 15:58, NW) Okusinga bwe kyali kibadde, kikulu nnyo ffe okufuba okubuulira abalala obubaka bw’Obwakabaka.

5 Ka twemalire ku kubuulira abalala amawulire amalungi, nga tukikola nnyumba ku nnyumba era ne mu buli kifo kyonna abantu we bayinza okusangibwa mu kitundu kye tubuuliramu. Bwe twenyigira ennyo nga bwe kisoboka mu mulimu gw’okubuulira, twoleka lwatu nti tukulembezza Obwakabaka mu bulamu bwaffe. (Mat. 6:33) Obwesigwa bwaffe mu kubuulira ekigambo mu bwangu bujja kutuleetera essanyu lingi.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza