LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 1/00 lup. 3
  • Ebirango

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebirango
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
km 1/00 lup. 3

Ebirango

◼ Ebitabo eby’Okugaba mu Jjanwali: Ebitabo byonna eby’empapula 192 ebyakubibwa nga 1986 tegunnatuuka ekibiina bye kirina. Ebibiina ebitalina bitabo bino biyinza okugaba ebitabo Life​—How Did It Get Here? By Evolution or by Creation? oba Osobola Okuba Omulamu Emirembe Gyonna mu Lusuku lwa Katonda ku Nsi, oba ekitabo ekirala kyonna ekiriwo mu kibiina. Febwali: Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka. Maaki: Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo. Okufuba okw’enjawulo kujja kukolebwa okufuna abayizi ba Baibuli. Apuli: Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Beera ne brocuwa Atwetaagisa okugabira abo abaagala okuyiga naffe, era fuba okutandika okubayigiriza Baibuli mu maka gaabwe.

◼ Ababuulizi ababatize bonna abanaabaawo ku Lukuŋŋaana lw’Obuweereza mu wiiki etandika Jjanwali 10 bayinza okufuna kaadi ewa Obulagirizi era Eggya Obuvunaanyizibwa ku Basawo ne Kaadi Eyogera ku Muntu ey’okuweebwa abaana baabwe.

◼ Okutandika mu Febwali, naye obutasukka Maaki 5, okwogera kwa bonna okuppya okujja okuweebwa abalabirizi ba circuit kujja kuba n’omutwe “Kalumagedoni eya Nnamaddala​—Lwaki? Era Ddi?”

◼ Ebibiina byandikoze enteekateeka ennungi ez’okukuza Ekijjukizo omwaka guno ku Lw’Okusatu, nga Apuli 19 oluvannyuma lw’enjuba okugwa. Newakubadde okwogera kuyinza okutandika nga bukyali, obubonero bw’Ekijjukizo tebulina kuyisibwa okutuusa ng’enjuba emaze okugwa. Mwebuuze ku bakugu ab’omu kitundu mumanye ddi enjuba lw’egwa mu kitundu kyammwe. Wadde nga buli kibiina kiyinza okwagala okuba n’omukolo ogwakyo ogw’Ekijjukizo, kiyinza obutasoboka ebiseera byonna. Ebibiina ebiwerako bwe biba byeyambisa Kingdom Hall emu, oboolyawo ekibiina ekimu oba ebisingawo biyinza okufuna ekifo ekirala eky’okukozesa akawungeezi ako. We kisoboka, tuwa ekirowoozo nti wandibaddewo ebbanga lya ddakiika ezitakka wansi 40 wakati wa programu bonna basobole okuganyulwa mu bujjuvu era kisobozese okubuuza abagenyi n’okuzzaamu abappya amaanyi. Era eby’entambula n’aw’okusimba emmotoka byandirowoozeddwako, nga mw’otwalidde n’okuleeta era n’okukima abantu. Akakiiko k’abakadde kandisazeewo enteekateeka ezinaasinga obulungi mu kitundu kyabwe.

◼ Okwogera kwa bonna okw’enjawulo okw’ebiseera by’Ekijjukizo mu 2000 kujja kuweebwa ku Ssande, Apuli 16. Omutwe gw’okwogera kuno gujja kuba “Lwaki Olulyo lw’Omuntu Lwetaaga Ekinunulo.” Endagiriro y’emboozi ejja kuweerezebwa. Ebibiina ebinaaba n’okukyala kw’omulabirizi wa circuit, oba olukuŋŋaana olw’enjawulo olw’olunaku olumu ku wiikendi eyo bijja kufuna okwogera okw’enjawulo wiiki eddako. Tewali kibiina kisaanidde kufuna kwogera kuno okw’enjawulo nga Apuli 16, 2000 terunnatuuka.

◼ Ekyawandiikibwa eky’omwaka mu 2000 kiri “Tetuli bantu abadda ennyuma . . . naye tuli bantu abalina okukkiriza.”​—Abaebbulaniya 10:39. Enteekateeka zandikoleddwa ne kitimbibwa mu Kingdom Hall zaffe.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza