LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • wp19 Na. 3 lup. 3
  • Okufa Tekwewalika

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okufa Tekwewalika
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
  • Laba Ebirala
  • Vidiyo Eyeetaaga Okufumiitirizaako Ennyo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Ebirungi Ebiva mu Vidiyo Eziwa Obujulirwa
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
  • “Eno Ngeri Mpya ey’Okuyigiriza!”
    Zuukuka!—2016
  • Vidiyo Empya Eneetuyamba Okufuna Abayizi ba Bayibuli
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
wp19 Na. 3 lup. 3
Ebifaananyi ebiraga omukazi nga muto, ng’ayiga piyano, ng’akutte ebimuli, nga mugole, ng’ali n’omwami we awamu ne mutabani waabwe, nga bakaddiye n’omwami we, ng’azannya piyano, kati ng’ali yekka

Okufa Tekwewalika

KUBA akafaananyi ng’olaba vidiyo eraga omuntu omututumufu, oboolyawo omuyimbi gw’oyagala ennyo. Etandika ng’eraga bwe yali ng’akyali muto, ng’ayiga eby’okuyimba era nga yeegezaamu enfunda n’enfunda. Oluvannyuma omulaba ng’ayimbira mu bivvulu eby’enjawulo, ng’agenda mu nsi ez’enjawulo n’atuuka n’okumanyibwa mu nsi yonna. Oba okyali awo ng’olaba ebifaananyi bye ng’akaddiye era oluvannyuma n’afa.

Vidiyo eyo eraga omuntu eyaliwo ddala era oluvannyuma n’afa. Ka kibe nti omuntu muyimbi, munnassaayansi, munnabyamizannyo, oba omuntu omulala yenna omututumufu, ekibatuukako kye kimu. Omuntu ayinza okuba ng’alina bingi by’akoze, naye olowooza teyandikoze bingi n’okusingawo singa tewaaliwo kukaddiwa n’okufa?

Eky’ennaku, ffenna ekyo kye kitulindiridde. (Omubuulizi 9:5) Ne bwe tukola ki, tetusobola kwewala kukaddiwa n’okufa. Ng’oggyeeko ekyo, tusobola okufuna akabenje oba okulwala ne tufa. Nga Bayibuli bw’egamba, tulinga olufu “olulabika akaseera akatono oluvannyuma ne lubula.”​—Yakobo 4:14.

Ekyo kireetera abamu okufuna endowooza egamba nti “ka tulye era tunywe, kubanga enkya tujja kufa.” (1 Abakkolinso 15:32) Abantu abalina endowooza ng’eyo baba bamanyi nti basobola okufa essaawa yonna era nga tebalina ssuubi lya biseera bya mu maaso. Ekiseera kiyinza okutuuka nnaddala ng’ofunye ebizibu ne weebuuza nti, ‘Ddala obulamu bulina kuba bwe buti?’ Eky’okuddamu oyinza ku kiggya wa?

Abantu bangi balowooza nti bannassaayansi be basobola okubayamba okufuna eky’okuddamu. Bannassaayansi n’abasawo balina bye bazudde ebyongeza ku myaka abantu gye bawangaala. Era bannassaayansi abamu bakola nnyo okulaba nti abantu bawangaala n’okusingawo. Ka kibe ki ekinaavaamu, ekyebuuzibwa kiri nti: Lwaki tukaddiwa ne tufa? Waliwo essuubi lyonna nti okufa kuliggwaawo? Ebibuuzo ebyo bijja kuddibwamu mu bitundu ebiddako.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza