Katonda y’Ani?
Abantu bangi bagamba nti bakkiririza mu Katonda. Naye bw’obabuuza nti Katonda y’ani, bakuwa eby’okuddamu bya njawulo. Abamu bagamba nti Katonda mulamuzi mukambwe, era nti atunoonyaamu ensobi asobole okutubonereza. Ate abalala bagamba nti Katonda alina okwagala kungi era asonyiwa ekiseera kyonna, ka tube nga tukoze ki. Kyokka abalala bagamba nti Katonda atuli wala nnyo era nti tatufaako. Olw’okuba waliwo endowooza za njawulo ezikwata ku Katonda, abantu bangi bagamba nti tekisoboka kumanya Katonda.
Kikulu okumanya Katonda? Yee. Bw’otegeera Katonda obulungi osobola okuba n’obulamu obw’amakulu. (Ebikolwa 17:26-28) Gy’onookoma okusemberera Katonda, naye gy’ajja okukoma okukwagala n’okukuyamba. (Yakobo 4:8) N’ekisingira ddala, bw’onoofuna okumanya okutuufu okukwata ku Katonda, ojja kufuna obulamu obutaggwaawo.—Yokaana 17:3.
Oyinza otya okumanya Katonda? Lowooza ku muntu gw’omanyi obulungi, gamba nga mukwano gwo ow’oku lusegere. Watandika otya okubeera mukwano gwe? Oboolyawo wasooka kumanya linnya lye, engeri ze, by’ayagala ne by’atayagala, by’akoze ne byateekateeka okukola, n’ebirala. Bye wamumanyaako bye byakusikiriza okumufuula mukwano gwo.
Mu ngeri y’emu, bwe tunoonya eby’okuddamu mu bibuuzo bino wammanga, kisobola okutuyamba okumanya Katonda:
ERINNYA LYA KATONDA Y’ANI?
ENGERI ZA KATONDA ZE ZIRUWA?
BIKI KATONDA BY’AKOZE?
BIKI KATONDA BY’AJJA OKUKOLA?
OKUMANYA KATONDA KIYINZA KUKUGANYULA KITYA?
Akatabo kano kajja kukuyamba okumanya engeri Bayibuli gy’eddamu ebibuuzo ebyo. Kajja kukuyamba okumanya Katonda era n’emiganyulo egiri mu kuba n’enkolagana ennungi naye.