Ebirimu
WIIKI EYA FEBWALI 4-10, 2019
3 “Tulabagane mu Lusuku lwa Katonda!”
Abakristaayo ab’amazima beesunga nnyo Olusuku lwa Katonda. Ekitundu kino kiraga we tusinziira mu Byawandiikibwa okuba abakakafu nti olusuku olwo lujja kubaawo, era kiraga engeri gye tusaanidde okutegeeramu Olusuku lwa Katonda Yesu lwe yasuubiza.
WIIKI EYA FEBWALI 11-17, 2019
10 Ssa Ekitiibwa mu Ekyo “Katonda ky’Agasse Awamu”
Ekitundu kino kiraga ekyo Bayibuli ky’eyogera ku bufumbo obw’ekitiibwa. Tuyinza tutya okukyoleka nti tussa ekitiibwa mu bufumbo? Era tuyinza tutya okukolera ku ebyo Bayibuli by’eyogera ku kugattululwa n’okwawukana?
15 Ebyafaayo—‘Yakuwa Atukoledde eby’Ekisa’
WIIKI EYA FEBWALI 18-24, 2019
19 Abavubuka, Omutonzi Wammwe Ayagala Mube Basanyufu
WIIKI EYA FEBWALI 25, 2019–MAAKI 3, 2019
24 Abavubuka Musobola Okuba n’Obulamu obw’Essanyu
Abavubuka batera okwolekagana n’okusalawo okw’amaanyi, gamba ng’okukwata ku biruubirirwa bye basaanidde okweteerawo. Abantu mu nsi batera okukubiriza abavubuka okuluubirira obuyigirize obwa waggulu oba emirimu egisasula ssente ennyingi. Naye Yakuwa akubiriza abavubuka okumukulembeza. Ebitundu bino ebibiri biraga nti kya magezi okuwuliriza Katonda.
29 “Omutuukirivu Ajja Kusanyuka olw’Ebyo Yakuwa by’Amukoledde”
32 Olukalala lw’Emitwe mu Omunaala gw’Omukuumi ne mu Zuukuka! eza 2018