Ebirimu
WIIKI EYA OKITOBBA 29, 2018–NOOVEMBA 4, 2018
3 “Bwe Mumanya Ebintu Bino, Muba Basanyufu Bwe Mubikola”
Okumanya tekugasa muntu bw’atakukolerako. Naye kyetaagisa obwetoowaze okusobola okukolera ku ebyo bye tuyiga. Ekitundu kino kijja kutuyamba okulaba engeri gye tuyinza okwoleka obwetoowaze nga tukoppa abo aboogerwako mu Bayibuli abaabuulira abantu aba buli ngeri, abaasabira abalala, era abaalindirira Yakuwa.
8 Abakristaayo Abakaddiye—Yakuwa Abasiima olw’Obwesigwa Bwe Mwolese
WIIKI EYA NOOVEMBA 5-11, 2018
12 Weeyongere Okwoleka Okwagala Kubanga Kuzimba
Mu nnaku zino ez’enkomerero kyangu okuwulira nga tuweddemu amaanyi oba nga tuzitoowereddwa olw’ebizibu bye twolekagana nabyo. Yakuwa ne Yesu batuyamba okwaŋŋanga ebizibu ebyo. Naye ffenna tulina obuvunaanyizibwa obw’okubudaabuda n’okuzzaamu abalala amaanyi. Ekitundu kino kiraga engeri gye tuyinza okuzimbagana mu kwagala.
WIIKI EYA NOOVEMBA 12-18, 2018
17 Balina Essanyu Abo Abaweereza “Katonda Omusanyufu”
Yakuwa ye Katonda omusanyufu era ayagala abaweereza be okuba abasanyufu. Naye tuyinza tutya okuba abasanyufu nga twolekagana n’ebizibu mu nsi ya Sitaani eno? Yesu bwe yali abuulira ku Lusozi, yawa amagezi agasobola okutuyamba okusigala nga tuli basanyufu.
WIIKI EYA NOOVEMBA 19-25, 2018
23 Omuyinza w’Ebintu Byonna Afaayo ku Balala
WIIKI EYA NOOVEMBA 26, 2018–DDESEMBA 2, 2018
28 Faayo ku Balala era Beera wa Kisa nga Yakuwa
Leero abantu abasinga obungi beerowoozaako bokka. Naye bo abantu ba Katonda ba njawulo kubanga baagala bantu bannaabwe. Engeri emu gye balagamu okwagala kwe kufaayo ku balala. Mu bitundu bino ebibiri tujja kulaba engeri Yakuwa gy’akiraga nti atufaako era tujja kulaba engeri gye tuyinza okumukoppa.