Ebirimu
WIIKI EYA AGUSITO 6-12, 2018
3 “Obwakabaka Bwange Si bwa mu Nsi Muno”
WIIKI EYA AGUSITO 13-19, 2018
8 Ka Ffenna Tube Bumu nga Yakuwa ne Yesu Bwe Bali Obumu
Abantu mu kiseera kya Yesu baalina enjawukana ezaali ziva ku by’obufuzi, ku mawanga, ne ku bintu ebirala. Mu bitundu bino ebibiri tujja kulaba engeri Yesu gye yayigirizaamu abayigirizwa be okuba obumu n’okwewala obusosoze. Ate era tujja kulaba engeri gye tuyinza okukoppa ekyokulabirako kyabwe mu nsi eno ejjudde enjawukana.
13 Yandibadde Asiimibwa Katonda
WIIKI EYA AGUSITO 20-26, 2018
16 Kkiriza Amateeka ga Katonda n’Emisingi Gye Okutendeka Omuntu Wo ow’Omunda
Omuntu waffe ow’omunda bw’aba ow’okutuwa obulagirizi obwesigika, tulina okumutendeka. Yakuwa yatuwa amateeka n’emisingi ebituyamba okutendeka omuntu waffe ow’omunda n’okutunuulira ebintu nga bw’abitunuulira. Ekitundu kino kiraga engeri gye tuyinza okukolera ku misingi gya Bayibuli.
WIIKI EYA AGUSITO 27, 2018–SSEBUTEMBA 2, 2018
21 ‘Muleke Ekitangaala Kyammwe Kyake,’ Yakuwa Agulumizibwe
Yesu yakubiriza abayigirizwa be okuleka ekitangaala kyabwe okwaka basobole okugulumiza Katonda. Ekitundu kino kiraga engeri gye tuyinza okwongera okuleka ekitangaala kyaffe okwaka.
26 Ebyafaayo—Yakuwa Yambudaabuda mu Bizibu Byange Byonna
32 Okyajjukira?