Ebirimu
WIIKI YA AGUSITO 1-7, 2016
WIIKI YA AGUSITO 8-14, 2016
11 Okkiriza Omubumbi Omukulu Okukubumba?
Omubumbi ye muntu akozesa emikono gye okukola mu bbumba ebintu ebirabika obulungi. Mu bitundu bino ebibiri tujja kulaba ensonga lwaki Yakuwa tumuyita “Mubumbi waffe” era n’ebyo bye tulina okukola tube ng’ebbumba eggonvu mu mikono gye.
WIIKI YA AGUSITO 15-21, 2016
18 “Yakuwa Katonda Waffe Ye Yakuwa Omu”
Okuba nti Yakuwa Katonda waffe ye “Yakuwa omu” kitegeeza ki? Ekyo kikwata kitya ku nkolagana yaffe ne Yakuwa awamu ne bakkiriza bannaffe? Okuva bwe kiri nti tuva mu mawanga ga njawulo, tulina okumanya ebyo Yakuwa by’atwetaagisa tusobole okusigala nga tusiimibwa mu maaso ge.
WIIKI YA AGUSITO 22-28, 2016
23 Tokkiriza Nsobi z’Abalala Kukwesittaza
Ffenna tetutuukiridde era emirundi egimu tukola ebintu ebikosa abalala. Byakulabirako ki ebyogerwako mu Bayibuli ebituyamba okulaba engeri gye tusaanide okweyisaamu ng’abalala boogedde oba nga bakoze ebintu ebitunyiiza?
28 Ekintu eky’Omuwendo Okusinga Alimasi
32 Okyajjukira?