Ebirimu
WIIKI YA JJUUNI 27, 2016–JJULAAYI 3, 2016
3 Mugonjoole Obutakkaanya mu Ngeri ey’Okwagala
Olw’okuba ffenna tetutuukiridde, tukola ebintu ebinyiiza abalala era n’abalala bakola ebintu ebitunyiiza. Ekitundu kino kiraga engeri gye tuyinza okukolera ku misingi gya Bayibuli okusobola okugonjoola obutakkaanya.
WIIKI YA JJULAAYI 4-10, 2016
8 “Mugende Mufuule Abantu b’Omu Mawanga Gonna Abayigirizwa”
Ekitundu kino kiwa obukakafu obulaga nti Abajulirwa ba Yakuwa be bokka abatuukiriza obunnabbi bwa Yesu obusangibwa mu Matayo 24:14. Era kituyamba okulaba kye kitegeeza okuba “abavubi b’abantu.”—Mat. 4:19.
WIIKI YA JJULAAYI 11-17, 2016
Bw’oba osalawo, osalawo ng’osinziira ku ekyo ggwe ky’olowooza nti kituufu? Oba kyandiba nti ogamba abalala okukusalirawo? Ekitundu kino kiraga engeri okumanya endowooza ya Katonda gye kiyinza okutuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi.
WIIKI YA JJULAAYI 18-24, 2016
18 Bayibuli Ekyeyongera Okukyusa Obulamu Bwo?
Oyinza okuba nga weebuuza, ‘Okuva bwe kiri nti nnasobola okukola enkyukakyuka ez’amaanyi nga sinnabatizibwa, lwaki kinzibuwalidde okukola enkyukakyuka endala ezirabika ng’entono?’ Ekitundu kino kiraga ensonga lwaki ekyo kitera okubaawo era kiraga engeri Ekigambo kya Katonda gye kiyinza okwongera okukyusa obulamu bwaffe.
WIIKI YA JJULAAYI 25-31, 2016
23 Ganyulwa mu Bujjuvu mu Bintu Yakuwa by’Atuwa
Ekitundu kino kiraga endowooza gye tulina okwewala bwe tuba ab’okuganyulwa mu bujjuvu mu bintu Yakuwa by’atuwa. Tujja kulaba engeri gye tuyinza okwewalamu endowooza eyo n’engeri gye tuyinza okuganyulwa mu bujjuvu mu mmere ey’eby’omwoyo Yakuwa gy’atuwa.