LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w15 11/1 lup. 1-16
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Laba Ebirala
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Wajja Kubaawo Okuzuukira!
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Okuzuukira Kye Ki?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
w15 11/1 lup. 1-16

BAYIBULI EDDAMU EBIBUUZO BINO

Abafu baliddamu okuba abalamu?

Abantu nga basanyukira abazuukidde mu nsi empya

Omutonzi w’ebintu byonna asobola okuzuukiza abafu

Yakuwa Katonda ye nsibuko y’obulamu. (Zabbuli 36:9) Ekyo tekikukakasa nti Katonda asobola okuzuukiza abantu abaafa? Bayibuli eraga nti ekyo kyennyini ky’agenda okukola mu biseera eby’omu maaso. (Soma Ebikolwa 24:15) Naye, lwaki ajja kuzuukiza abafu?

Omutonzi waffe yatutonda ng’ayagala tubeere ku nsi emirembe gyonna. (Olubereberye 1:31; 2:15-17) Ekyo kye kigendererwa kye eri abantu n’okutuusa leero. Tekimusanyusa kulaba nga tubonaabona era nga tubeerawo emyaka mitono nnyo.​—Soma Yobu 14:1, 14, 15.

Abanaazuukizibwa banaabeera wa?

Katonda yatonda abantu ng’ayagala babeere mu ggulu? Nedda. Bamalayika Katonda be yatonda okubeera mu ggulu, naye abantu yabatonda kubeera ku wano nsi. (Olubereberye 1:28; Yobu 38:4, 7) Ate lowooza ku bantu Yesu be yazuukiza. Abantu abo baddamu ne babeera wano ku nsi. Mu ngeri y’emu, abantu abasinga obungi ku abo abanaazuukizibwa bajja kubeera wano ku nsi.​—Soma Yokaana 5:28, 29; 11:44.

Kyokka, waliwo abantu Katonda b’ajja okuzuukiza bagende mu ggulu, era bajja kuba n’emibiri gya myoyo. (Lukka 12:32; 1 Abakkolinso 15:49, 50) Abo abanaazuukizibwa okugenda mu ggulu bajja kufuga ensi nga bakabaka nga bali wamu ne Yesu Kristo.​—Soma Okubikkulirwa 5:9, 10.

Okumanya ebisingawo, soma essuula 7 ey’akatabo, Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa

Osobobola okukafuna ne ku www.jw.org/lg

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza