LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w15 7/1 lup. 16
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Laba Ebirala
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
w15 7/1 lup. 16

BAYIBULI EDDAMU EBIBUUZO BINO

Lwaki abantu bakola ebintu ebibi?

Yesu ng’agaana obwakabaka bw’ensi zonna Omulyolyomi bw’amuwa

Ani eyakema yesu okukola ebintu ebibi?​—Matayo 4:8-10

Abantu baagala okuba ab’emirembe, abeesigwa, era ab’ekisa. Naye lwaki waliwo obumenyi bw’amateeka, obutali bwenkanya, n’ebikolwa eby’obukambwe? Ebiseera ebisinga amawulire gabaamu ebintu eby’entiisa. Waliwo aleetera abantu okukola ebintu ebyo ebibi?​—Soma 1 Yokaana 5:19.

Katonda yatonda abantu bakole ebintu ebibi? Nedda, Yakuwa Katonda yatonda abantu mu kifaananyi kye, nga basobola okwoleka okwagala kwe. (Olubereberye 1:27; Yobu 34:10) Wadde kiri kityo, Katonda yawa abantu eddembe ery’okwesalirawo. Bazadde baffe abaasooka bwe baagaana okukoppa Yakuwa. Baajeema era ne baafuuka abatatuukiridde. Naffe twonoona olw’okuba twasikira ekibi okuva ku bo.​—Soma Ekyamateeka 32:4, 5.

Ebintu ebibi biriggwaawo?

Katonda ayagala twewale okukola ebintu ebibi. (Engero 27:11) Atuyigiriza engeri gye tuyinza okubyewalamu n’engeri gye tuyinza okufuna essanyu erya nnamaddala. Kyokka, mu kiseera kino tetusobola kwoleka kwagala kwa Katonda mu bujjuvu.​—Soma Zabbuli 32:8.

Wadde nga leero waliwo ebikolwa ebibi bingi, Katonda alese bibeewo okumala akaseera katono buli omu asobole okulaba ebintu ebibi ebiva mu bujeemu. (2 Peetero 3:7-9) Wadde kiri kityo, mu kiseera ekitali kya wala ensi ejja kubeerako abantu abasanyufu era abagondera Katonda.​—Soma Zabbuli 37:9-11.

Okumanya ebisingawo, laba essuula 3 ey’akatabo, Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa

Osobola okukafuna ne ku www.jw.org/lg

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza