LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w14 11/1 lup. 16
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Laba Ebirala
  • Wajja Kubaawo Okuzuukira!
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Essuubi Ekkakafu Erikwata ku Baagalwa Bo Abaafa
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Abantu Bo Abaafa Basobola Okuddamu Okuba Abalamu!
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
w14 11/1 lup. 16

BAYIBULI EDDAMU EBIBUUZO BINO

Ddala Yesu yazuukiza abafu?

Yesu azuukiza Laazaalo, era amugamba aveeyo mu ntaana

Yesu yazuukiza Laazaalo, eyali yaakamala ennaku nnya nga mufu

Bayibuli ekiraga bulungi nti Yesu yazuukiza abafu. Okuzuukira okwo si nfumo bufumo kubanga abantu Yesu be yazuukiza baaliyo era ebiseera n’ebifo gye yabazuukiriza bimanyiddwa. Ng’ekyokulabirako, mu mwaka gwa 31 embala eno, ekibiina ky’abantu baali batambula ne Yesu. Baali bava Kaperunawumu nga bagenda e Nayini. Bwe baali banaatera okutuuka mu kibuga ekyo, baasanga ekibinja ekirala eky’abantu abaali basitudde omulambo. Yesu yazuukiza omufu oyo, era tuli bakakafu nti ekyo kyaliwo kubanga kyawandiikibwa mu Kigambo kya Katonda, Bayibuli, era abantu bangi baakiraba.​—Soma Lukka 7:11-15.

Ate era Yesu yazuukiza mukwano gwe Laazaalo eyali yaakamala ennaku nnya nga mufu. Tusobola okuba abakakafu nti okuzuukira okwo nakwo kwaliyo kubanga waaliwo abantu bangi abaalaba nga Yesu azuukiza Laazaalo.​—Soma Yokaana 11:39-45.

Lwaki Yesu yazuukiza abafu?

Yesu yazuukiza abafu olw’okuba yasaasiranga abo abaabanga bafiiriddwa. Ate era yakikola okulaga nti Kitaawe, Omutonzi w’ebintu byonna, yamuwa obuyinza ku kufa.​—Soma Yokaana 5:21, 28, 29.

Eky’okuba nti Yesu yazuukiza abafu kitukakasa nti ajja kutuukiriza ekyo kye yasuubiza. Ajja kuzuukiza abantu bangi, nga mw’otwalidde n’abatali batuukirivu abaafa nga tebamanyi bikwata ku Katonda ow’amazima. Bajja kufuna akakisa okuyiga ebikwata ku Yakuwa Katonda n’okukiraga nti bamwagala.​—Soma Ebikolwa 24:15.

Okumanya ebisingawo, laba essuula 7 ey’akatabo, Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa

Osobola okukafuna ne ku mukutu www.jw.org

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza