LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w14 10/1 lup. 16
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Laba Ebirala
  • Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
    Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
  • Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
w14 10/1 lup. 16

BAYIBULI EDDAMU EBIBUUZO BINO

Lwaki tusaba Obwakabaka bwa Katonda bujje?

Yesu Kristo yeebagadde embalaasi ng’agenda kuzikiriza abalabe ba Katonda

Wandyagadde okumanya ebisingawo ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda n’ebyo bye bujja okukola?

Obwakabaka bwa Katonda gavumenti ya mu ggulu. Yesu yagamba abagoberezi be okusaba Obwakabaka obwo bujje kubanga bwe bujja okuleeta obutuukirivu n’emirembe ku nsi. Tewali gavumenti y’abantu esobola kumalawo bikolwa bya bukambwe, obutali bwenkanya, oba endwadde, naye Obwakabaka bwa Katonda busobola era bujja kumalawo ebizibu ebyo byonna. Katonda yalonda Omwana we Yesu okuba Kabaka w’Obwakabaka obwo. Ate era waliwo abantu be yalonda abajja okufugira awamu ne Yesu mu Bwakabaka obwo.​—Soma Lukka 11:2; 22:28-30.

Obwakabaka bwa Katonda bunaatera okuzikiriza abo bonna abaziyiza obufuzi bwa Katonda. N’olwekyo bwe tusaba nti Obwakabaka bwa Katonda bujje, tuba tusaba buggyewo gavumenti z’abantu zonna bwo bwe buba bufuga.​—Soma Danyeri 7:13, 14; Okubikkulirwa 11:15, 18.

Lwaki Obwakabaka bwa Katonda bujja kuganyula nnyo abantu?

Yesu Kabaka mulungi kubanga musaasizi. Ate era olw’okuba Yesu Mwana wa Katonda, asobola okuyamba abantu bonna abali mu bwetaavu.​—Soma Zabbuli 72:8, 12-14.

Obwakabaka bwa Katonda bujja kuganyula abo bonna abasaba bujje era abakola Katonda by’ayagala. Ojja kuganyulwa nnyo bw’oneeyongera okuyiga ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda.​—Soma Lukka 18:16, 17; Yokaana 4:23.

Okumanya ebisingawo, laba essuula 8 ey’akatabo, Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa

Osobola okukafuna ne ku mukutu www.jw.org

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza