LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w14 5/1 lup. 16
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Laba Ebirala
  • Lwaki Katonda Akyaleseewo Ebintu Ebibi n’Okubonaabona?
    Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
  • Lwaki Katonda Aleka Obubi n’Okubonaabona Okubaawo?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Lwaki Waliwo Okubonaabona Kungi mu Nsi?
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Ddala Ani Afuga Ensi?
    Ddala Ani Afuga Ensi?
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
w14 5/1 lup. 16

BAYIBULI EDDAMU EBIBUUZO BINO

Ddala ani afuga ensi?

Ebifaananyi ebiraga entalo, obumenyi bw’amateeka, ebikolwa eby’ettemu, n’obutyabaga

Singa Katonda y’afuga ensi, wandibaddewo okubonaabona?

Abantu bangi balowooza nti Katonda y’afuga ensi. Naye singa Katonda y’afuga ensi, wandibaddewo okubonaabona? (Ekyamateeka 32:4, 5) Bayibuli eraga nti omubi y’afuga ensi.​—Soma 1 Yokaana 5:19.

Kyajja kitya omubi okutandika okufuga ensi? Abantu bwe baali baakatondebwa, omu ku bamalayika yajeemera Katonda era n’aleetera n’abantu abo okujeema. (Olubereberye 3:1-6) Abantu abo baasalawo okugondera malayika oyo omujeemu ayitibwa Sitaani, bwe batyo ne bamufuula omufuzi waabwe. Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna y’agwanidde okuba omufuzi waffe, naye tatukaka kumugondera, wabula ayagala tukikole olw’okuba tumwagala. (Ekyamateeka 6:6; 30:16, 19) Eky’ennaku, abantu abasinga obungi basazeewo okujeemera obufuzi bwa Katonda ng’abantu abaasooka okutondebwa bwe baakola.​—Soma Okubikkulirwa 12:9.

Ani anaagonjoola ebizibu by’abantu?

Katonda anaaleka Sitaani okufuga ensi emirembe gyonna? Nedda! Katonda ajja kukozesa Yesu okumalawo ebizibu Sitaani by’aleese.​—Soma 1 Yokaana 3:8.

Yesu ajja kukozesa amaanyi Katonda ge yamuwa, azikirize Sitaani. (Abaruumi 16:20) Oluvannyuma, Katonda ajja kufuga abantu bonna era abasobozese okuba mu bulamu obw’essanyu n’emirembe ng’ekigendererwa kye bwe kyali okuva ku ntandikwa.​—Soma Okubikkulirwa 21:3-5.

Okumanya ebisingawo, laba essuula 3 ey’akatabo, Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

Osobola okukafuna ne ku mukutu www.jw.org

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza