LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w13 10/1 lup. 7
  • Amawulire Amalungi eri Abantu Bonna

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Amawulire Amalungi eri Abantu Bonna
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Laba Ebirala
  • Obukristaayo obw’Amazima Buwangula!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Omukutu Gwaffe Ogwa Intaneeti—Gutuganyula era Guganyula n’Abalala
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Okubuulira Amawulire Amalungi nga Tulina Okukkiriza Okunywevu
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 10/1 lup. 7

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | BUBAKA KI OBULI MU BAYIBULI?

Amawulire Amalungi eri Abantu Bonna

Okuzuukira kwa Yesu kwanyweza okukkiriza kw’abayigirizwa be ne basobola okubuulira n’obunyiikivu. Omutume Pawulo yatambula mu Asiya Omutono yenna ne mu Meditereniyani ng’atandikawo ebibiina Ebikristaayo era ng’azzaamu Abakristaayo amaanyi basobole okuziyiza okupikirizibwa n’okugumira okuyigganyizibwa. Wadde waaliwo ebizibu ng’ebyo, abantu bangi bafuuka Abakristaayo.

Pawulo yasibibwa mu kkomera. Ne bwe yali mu kkomera, yawandiikira ebibiina Ebikristaayo amabaluwa okuzzaamu ab’oluganda amaanyi n’okubabuulirira. Yabalabula ne ku bwakyewaggula. Omwoyo gwa Katonda omutukuvu gwayamba Pawulo okukimanya nti, “emisege emikambwe,” oba abo aboogera “ebintu ebikyamye” bandiyingidde mu kibiina ne ‘basendasenda abayigirizwa okubagoberera.’​—Ebikolwa 20:29, 30.

Ku nkomerero y’ekyasa ekyasooka, obwakyewaggula obwo bwali butandise. Mu kiseera ekyo Yesu eyazuukizibwa yawa omutume Yokaana okubikkulirwa, n’amulaga ebyandibaddewo mu biseera eby’omu maaso. Nga Yokaana bwe yawandiika, tewali n’omu asobola kulemesa Katonda kutuukiriza kigendererwa kye eri ensi n’abantu, ka babe abo abaziyiza abantu ba Katonda oba abo abayigiriza eby’obulimba. Amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda gajja kutuuka ku “buli ggwanga n’ekika n’olulimi n’abantu.” (Okubikkulirwa 14:6) Ensi yonna ejja kufuulibwa olusuku lwa Katonda, era buli akola Katonda by’ayagala ajja kulubeeramu!

Ago ‘mawulire malungi’ gy’oli? Bwe kiba bwe kityo, weeyongere okuyiga obubaka obuva eri Katonda obuli mu Bayibuli n’engeri gye busobola okukuganyula kati ne mu biseera eby’omu maaso.

Osobola okusomera Bayibuli ku Intaneeti, ku mukutu www.jw.org. Ku mukutu ogwo era osobola okusomerako obutabo buno: The Bible​—What Is Its Message?, Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!, Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?, n’obutabo obulala obulaga ensonga lwaki tusaanidde okwesiga Bayibuli n’engeri gy’eyinza okutuyambamu mu maka ne mu bulamu bwaffe obwa bulijjo. Oba okumanya ebisingawo oyinza okubuuza omu ku Bajulirwa ba Yakuwa.

​—Byesigamiziddwa ku Ebikolwa by’Abatume, Abeefeso, Abafiripi, Abakkolosaayi, Firemooni, 1 Yokaana, Okubikkulirwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza