LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w12 7/15 lup. 32
  • “Ekirooto Kyange Kyatuukirira”

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • “Ekirooto Kyange Kyatuukirira”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Laba Ebirala
  • Mpeerezza Yakuwa Okumala Emyaka Nga 70 mu Cuba
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 7/15 lup. 32

“Ekirooto Kyange Kyatuukirira”

Emyaka nga 15 emabega, Emilia yali aweereza nga payoniya owa bulijjo. Naye oluvannyuma lw’ekiseera yalekera awo okuweereza nga payoniya. Kyokka yeeyongera okulowooza ku ssanyu lye yafunanga ng’aweereza nga payoniya bw’atyo n’ayagala okuddamu okuweereza nga payoniya.

Naye omulimu mwannyinaffe Emilia gwe yali akola gwali gumutwalira ebiseera bingi, era ekyo kyamumalako essanyu. Lumu bakozi banne baamuwulira ng’agamba nti: “Singa kibadde kisoboka okunkendeereza ku biseera bye mmala wano ku mulimu!” Ekyo mukama we bwe yakitegeerako, yamubuuza obanga ddala yali ayagala okumukendeereza ku biseera by’amala ku mulimu. Emilia yamugamba nti ekyo yali akyagala. Naye kampuni mwe yali akolera yali eyagala abakozi baayo bonna babe nga bakola kiseera kyonna. Bwe kityo, kyali kimwetaagisa okusooka okwogerako n’omukungu akulira kampuni. Emilia yateekateeka okusisinkana omukungu oyo era n’asaba Yakuwa amuyambe okuba omukkakkamu era omuvumu ng’ayogera naye.

Bwe yasisinkana omukungu oyo, Emilia yayogera naye mu ngeri ey’amagezi naye nga muvumu. Yamusaba amukendeereze ku biseera by’amala ku mulimu. Yamugamba nti, okuva bwe kiri nti Mujulirwa wa Yakuwa, bw’ataba ku mulimu aba agenze kuyamba bantu kuyiga Bayibuli. Era yamugamba nti leero abantu bangi tebamanyi kituufu na kikyamu, bwe kityo beetaaga amagezi agali mu Bayibuli okubayamba okusalawo obulungi. Emilia yamusuubiza nti yali ajja kweyongera okukola obulungi emirimu gye, naye ng’ayagala amukendeereze ku biseera by’amala ku mulimu asobole okufuna ebiseera ebiwerako okuyamba abantu abalala.

Omukungu oyo yamuwuliriza bulungi era n’amugamba nti naye lumu yalowoozaako ku ky’okukola nga nnakyewa asobole okuyamba abantu abalala. Era yamugamba nti ensonga ye yalimu eggumba, era nti okusaba kwe kwali kukkiriziddwa. Naye yamubuuza nti: “Okimanyi nti omusaala gwo gugenda kukendeezebwako?” Emilia yamugamba nti ekyo yali akimanyi, era nti yali ajja kukekkereza ssente entono z’anaaba afuna. Yagattako nti: “Ekigendererwa kyange ekikulu kwe kukolera abantu ekintu ekinaabaganyula mu bulamu bwabwe.” Omukungu yamugamba nti: “Njagala nnyo abantu abawaayo ebiseera byabwe okuyamba abalala.”

Tewali mukozi mulala yenna mu kampuni eyo gwe baali bakendeereza ku biseera by’amala ku mulimu. Emilia kati akola ennaku nnya zokka mu wiiki. Oluvannyuma Emilia baamwongeza omusaala, era kati afuna ssente ze zimu nga ze yafunanga ng’akyakola ekiseera kyonna! Emilia agamba nti: “Ekirooto kyange kyatuukirira, kati nsobola okuweereza nga payoniya owa bulijjo!”

Wali olowoozezza ku ky’okubaako enkyukakyuka z’okola okusobola okuweereza nga payoniya oba okuddamu okuweereza nga payoniya?

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 32]

Omukungu yamugamba nti: “Njagala nnyo abantu abawaayo ebiseera byabwe okuyamba abalala”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza