LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w11 7/1 lup. 3
  • Ebizibu Ebituleetera Okuba n’Essuubi

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebizibu Ebituleetera Okuba n’Essuubi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Laba Ebirala
  • Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
    munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
  • Wanaatera Okubaawo Ebiseera Ebirungi!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Zino Ze Nnaku ez’Enkomerero!
    Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
  • Enkomerero Enejja? Ekyo Yesu kye Yagamba
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2021
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
w11 7/1 lup. 3

Ebizibu Ebituleetera Okuba n’Essuubi

“Mu nnaku ez’oluvannyuma walibaawo ebiseera ebizibu.”​—2 TIMOSEEWO 3:1.

WALI owuliddeko—oba olabyeko—ekimu ku bintu bino wammanga ebinakuwaza?

● Obulwadde busse abantu bangi nnyo.

● Enjala esse abantu bikumi na bikumi.

● Musisi asse abantu nkumi na nkumi n’aleka n’abalala bangi nga tebalina wa kusula.

Ku mpapula eziddirira, ojja kulaba obumu ku bukakafu obukwata ku bintu nga bino ebizze bibaawo. Ate era, ojja kukiraba nti Bayibuli yalagula nti embeera ng’ezo zandibaddewo mu kiseera ekiyitibwa ‘ennaku ez’oluvannyuma.’a

Kyokka, ekigendererwa ky’ebitundu bino si kwe kukukakasa nti ensi gye tulimu ejjudde ebizibu. Naawe oyinza okuba ng’ebizibu bino obyerabiddeko n’amaaso go. Okwawukana ku ekyo, bitegekeddwa okukuwa essuubi. Bijja kulaga nti okutuukirizibwa kw’obunnabbi omukaaga bwe tugenda okwogerako kutegeeza nti ‘ennaku ez’oluvannyuma’ zinaatera okukoma. Ate era, ebitundu bino ebiddiriŋŋana bijja kulaga ebintu ebimu ebitera okwogerwa abo abatakkiriziganya na bukakafu buno obukwata ku nnaku ez’oluvannyuma era biwe n’ensonga ennungi eyinza okusinziirwako okukkiriza nti wanaatera okubaawo embeera ennungi.

[Obugambo obuli wansi]

a Okumanya ensonga lwaki Katonda akkiriza embeera zino embi okubaawo, laba ekitundu ekirina omutwe ogugamba nti “Lwaki Katonda Aleka Obubi n’Okubonaabona Okubaawo?” ekiri ku lupapula 16 ne 17 mu magazini eno.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza