‘Ebintu Bye Yakola Bigenze Naye’
THEODORE JARACZ, abadde ku Kakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa, yamaliriza obulamu bwe obw’oku nsi ku Lwokusatu ku makya, nga Jjuuni 9, 2010. Yafiira ku myaka 84 egy’obukulu era yaleka mukyala we, Melita, gwe yali amaze naye emyaka 53. Era yaleka ne mwannyina omukulu awamu n’abaana ba mwannyina basatu.
Ow’oluganda Jaracz yazaalibwa nga Ssebutemba 28, 1925, mu Pike County, Kentucky, Amerika, era yabatizibwa nga Agusito 10, 1941, ku myaka 15 egy’obukulu. Oluvannyuma lw’emyaka ebiri, nga wa myaka 17, yatandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo, bw’atyo n’atandika olugendo lwe oluwanvu olw’obuweereza obw’ekiseera kyonna bw’amazeemu emyaka kumpi 67.
Mu 1946, nga wa myaka 20, Ow’oluganda Jaracz yagenda mu Ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi ogw’omusanvu. Oluvannyuma lw’okuva mu ssomero, Ow’oluganda Jaracz yasindikibwa okuweereza ng’omulabirizi atambula mu Cleveland, Ohio, ekitundu ekiri mu Amerika. Mu 1951, yasindikibwa okugenda okulabirira emirimu egikolebwa ku ttabi lya Australia. Akatabo akayitibwa 1983 Yearbook of Jehovah’s Witnesses kagamba nti Ow’oluganda Jaracz “yazzaamu nnyo amaanyi ab’oluganda mu nsi eyo olw’obunyiikivu bwe yayoleka mu mulimu gw’okubuulira era n’olw’okufuba ennyo okukolera ku bulagirizi bw’ekibiina.”
Oluvannyuma lw’okuddayo mu Amerika, Ow’oluganda Jaracz yawasa Melita Lasko nga Ddesemba 10, 1956. Baatandika obufumbo bwabwe ng’Ow’oluganda Jaracz aweereza ng’omulabirizi atambula mu bitundu by’Amerika. Ng’omwaka gwa 1974 gunaatera okuggwako, Ow’oluganda Jaracz yayitibwa okuweereza ku Kakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa.
Ow’oluganda Jaracz ajja kusigala ng’ajjukirwa ng’omuweereza wa Yakuwa omunyiikivu era omwesigwa, eyeemalira ku kuweereza Katonda. Yali mwami ayagala ennyo mukyala we, ng’amufaako nnyo era yali musajja akuze mu by’omwoyo, eyakulembezanga ebyetaago by’abalala. (1 Kol. 13:4, 5) Eky’okuba nti yali afaayo nnyo ku balala kyeyolekera mu kuba nti yayagalanga nnyo abantu bonna bayisibwe mu ngeri ey’obwenkanya era ey’ekisa. Era ekyo kyeyolekera ne mu bunyiikivu bwe yayolekanga mu buweereza bw’ennimiro.
Wadde nga ffenna, Ababeseri awamu n’ab’oluganda okwetooloola ensi yonna, tuli banakuwavu nnyo olw’okufiirwa Ow’oluganda Jaracz abadde omunyiikivu, tuli basanyufu olw’okuba nti abadde mwesigwa eri Yakuwa okumala emyaka mingi. Tuli bakakafu nti ‘abadde mwesigwa okutuukira ddala ku kufa era nti aweereddwa engule ey’obulamu.’ (Kub. 2:10) Era tuli bakakafu nti ‘ebintu bye yakola bigenze naye.’—Kub. 14:13.