LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w10 4/1 lup. 3
  • Omusajja Eyaleeta Enkyukakyuka ku Nsi

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Omusajja Eyaleeta Enkyukakyuka ku Nsi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Laba Ebirala
  • Yakuwa Atuwa Obulagirizi nga Tukola Omulimu gw’Okubuulira
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 4/1 lup. 3

Omusajja Eyaleeta Enkyukakyuka ku Nsi

Abantu buwumbi na buwumbi babaddewo ku nsi era ne bafa. Abasinga obungi ku bo tebalina kintu kyonna kye bakoze ekimanyiddwa kye tuyinza okubajjukirirako. Kyokka, waliwo abatonotono abalina bye baakola mu byafaayo era ebiyinza okuba nga birina kye bikoze ne ku bulamu bwo obwa bulijjo.

OZUUKUKA ku makya era ne weeteekateeka okugenda okukola. Ossaako amataala ng’eno bwe weeteekateeka. Okwata ekitabo oba magazini by’onoosoma ng’oli mu bbaasi. Ojjukira okumira empeke ezikuyamba okulwanyisa obulwadde. Olunaku waakalutandika butandisi naye oganyuddwa mu ebyo abasajja abatonotono abaatiikirivu bye baakola.

Michael Faraday Omusajja ono Omungereza era munnasayansi eyazaalibwa mu 1791, ye yasooka okukola ebintu eby’amasannyalaze ebiyitibwa electric motor ne dynamo. Ebyo bye yavumbula biyambye abantu bangi okufuna amasannyalaze.

Ts’ai Lun Omusajja ono omukungu mu lubiri lw’e China, agambibwa okuba nti ye yavumbula engeri olupapula gye lukolebwamu awo nga mu mwaka gwa 105 E.E. (Embala Eno) ne kisobozesa empapula okukolebwa.

Johannes Gutenberg Omusajja ono Omugirimaani ye yasooka okukola ekyuma ekikuba ebitabo awo nga mu mwaka gwa 1450. Ekyuma kino kyayamba nnyo mu kukuba ebitabo ku miwendo emitono ennyo ne kisobozesa abantu bangi okufuna obubaka obukwata ku nsonga ez’enjawulo.

Alexander Fleming Mu 1928, omusajja ono omunoonyereza enzaalwa y’omu Scotland yavumbula eddagala eriyitibwa penicillin. Leero eddagala ery’ekika ekyo likozesebwa okwetooloola ensi yonna.

Awatali kubuusabuusa, ebyo ebyavumbulwa n’ebyakolebwa abasajja abo abatonotono biganyudde oba bisobozesezza obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu okuba n’obulamu obulungi.

Kyokka, waliwo omusajja omu ow’enjawulo ku balala. Si mumanyifu olw’okuba alina ekintu kyonna kye yavumbula mu bya sayansi oba mu by’ekisawo. Wabula, omusajja ono ataali mugagga eyafa emyaka nga 2,000 emabega yalekawo obubaka obw’amaanyi obuwa essuubi era obubudaabuda. Bangi bakkiriza nti ddala omusajja ono yaleeta enkyukakyuka ku nsi, bwe balowooza ku ekyo obubaka bwe kye bukoze ku bulamu bw’abantu okwetooloola ensi yonna

Omusajja oyo ye Yesu Kristo. Bubaka ki bwe yabuulira? Era kiki obubaka obwo kye buyinza okukola ku bulamu bwo?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza