Ebbaluwa Okuva mu Amerika
Olugendo Olwatusobozesa Okulaba Ebyakolebwanga Edda
KUBA akafaananyi essanyu lye wandibadde nalyo ng’otindizze olugendo okulaba embeera y’obulamu bajjajjaabo gye baalimu. Ekyo kyennyini kye kyaliwo bwe twatindigga olugendo okuva Switzerland ne tugenda mu Amerika. Abantu abasinga obungi balowooza nti Amerika yakulaakulana dda mu buli kimu, naye nno olugendo lwaffe lwatuzaayo emabega emyaka ebikumi bibiri. Ka tukunyumize bwe byali.
Olw’okuba twogera olumu ku nnimi ezoogerwa mu Switzerland, twayitibwa okugenda mu ssaza ly’e Indiana tumaleyo emyezi esatu. Twalina ekigendererwa eky’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda eri Abamisi abaali bakyakozesa olulimi olwayogerwanga bajjajjaabwe. Mu Indiana waliyo Abamisi bangi.
Abamisi baasibuka mu bantu abaaliwo mu kyasa 17 abaayitibwanga Anabaptists. Erinnya lye bayitibwa baaliggya ku mukulembeze waabwe eyali ayitibwa Jacob Amman eyabeeranga mu Switzerland. Okusinziira ku ebyo bye baayiga mu Baibuli mu biseera ebyo eby’emabega, abantu abo abaali batya Katonda baakitegeera nti kikyamu okubatiza abaana abawere era n’okwenyigira mu by’ekijaasi. Gavumenti yabayigganya nnyo olw’enzikiriza yaabwe. Era abamu ekyo kyabaviirako okuttibwa. Okuyigganyizibwa okwo kweyongera okuba okw’amaanyi era bangi ku bo baawalirizibwa okugenda mu bitundu ebirala ebya Switzerland ne Bufalansa. Mu masekkati g’ekyasa 19, enkumi n’enkumi z’Abamisi baali baddukidde mu Amerika. Yonna gye baddukira, baagenda n’obuwangwa bwabwe era n’olulimi lwe baayogeranga mu Switzerland.
Bwe twakyalira abantu bano abakkakamu, beewuunya nnyo okuwulira nga twogera olulimi lwabwe! Kuba akafaananyi ku ebyo ebyaliwo.
Batubuuza nti, “Kijja kitya okuba nga mwogera olulimi lwaffe?”
Tubaddamu nti, “Kubanga tuva mu Switzerland.”
“Naye temuli Bamisi!” Beewuunya.
Bangi batwaniriza, era ne tulaba ng’embeera y’obulamu bwabwe efaananako n’eyo ey’omu biseera eby’edda. Mu kifo ky’amataala agakolera ku masannyalaze, balina butadooba; mu kifo ky’emmotoka, balina mbalaasi na bigaali; mu kifo kya radiyo, bayimba buyimbi; era amazzi bagakima ku luzzi.
Ekisinga okutusanyusa bwe buwoombeefu n’empisa ennungi ez’abo be tukyalira. Abamisi bangi basoma Baibuli buli lunaku, era baagala nnyo okugikubaganyaako ebirowoozo. Kino kituwa akakisa okukubaganya nabo ebirowoozo ku kigendererwa kya Katonda eri ensi n’eri olulyo lw’omuntu.
Amangu ddala, kimanyibwa mu kitundu kyonna nti waliwo abagenyi abavudde mu Switzerland. Bangi batusaba okukyalirako ab’eŋŋanda zaabwe era tukikola. Tusanyuka nnyo nga batuyise okugenda ku ssomero ly’Abamisi. Kiki ekiddirira?
Tutuuka ku ssomero era amangu ddala omusomesa atutwala mu kibiina omuli abayizi 38 era bonna batusimba amaaso. Abayizi okuva mu bibiina munaana abali wakati w’emyaka 7 ne 15, bakuŋŋaanidde mu kibiina kimu. Abawala bambadde yunifoomu eza bbulu n’enkuufiira enjeru; abalenzi bambadde empale enzirugavu n’essaati eza bbulu omukwafu. Ekibiina ekyo kirina siringi eri waggulu ennyo. Ebisenge byakyo ebisatu byasiigibwa langi eya bbulu ow’amazzi ate nga ku kisenge ky’omu maaso kuliko olubaawo oluwandiikibwako. Okumpi awo waliwo mmaapu z’ensi yonna ate mu nsonda waliwo sigiri ennene ey’ekyuma.
Bwe tutuula mu maaso g’ekibiina, abaana batutunuulira enkaliriza. Omusomesa ayita abayizi okuva mu buli kibiina n’ababuuza ebyo bye yabawadde okukolera awaka. Kitwewuunyisa nnyo omusomesa bw’abuuza abayizi ebikwata ku nsozi z’omu Switzerland. Ebitabo omuli ebyo omusomesa by’ayigiriza abaana bikadde nnyo, era atubuuza obanga Switzerland ekyali ng’ebitabo ebyo bwe bigyogerako. Ente zikyaliira mu nsozi mu biseera eby’ekyeya oba ensozi ezo zikyabeerako omuzira? Oluvannyuma lw’okutulaga ebifaananyi ebiri mu langi enjeru n’enzirugavu ebiri mu kitabo kye, omusomesa ono assaako akamwenyumwenyu nga tumulaze ebyo ebiri mu langi ez’enjawulo ebiraga ensozi ezibuutikiddwa omuzira.
Omukyala w’omusomesa akola ng’omumyuka we, atubuuza ekibuuzo nti, “Musobola okuyimba?” Tumuddamu nti tetusobola. Kyokka, olw’okuba tukimanyi nti Abamisi bayimba bulungi, tubasaba okutuyimbirayo oluyimba. Bakkiriza okutuyimbira, era tuwuniikirira nnyo ng’abayimbi bano 40 batuyimbira. Oluvannyuma, omusomesa alagira abaana bagende bazannyeko.
Kati mukyala w’omusomesa atusaba tubayimbireyo akayimba. Olw’okuba tumanyi ennyimba eziwerako eziri mu lulimi lwabwe, tukkiriza okubayimbira. Amangu ago, abaana bakimanya nti tuyimba era ne bakomawo mu kibiina. Nga tuyimiridde mu maaso g’ekibiina, tugezaako okubayimbira.
Oluvannyuma, twanirizibwa okuliira awamu eky’emisana n’amaka g’Abamisi agalimu abantu 12. Emmeeza empanvu ey’olubaawo, eteekebwako eby’okulya bingi ebirungi—obummonde obugotte, ennyama, kasooli, emigaati, omuzigo, enva endiirwa, keeki, n’eby’okulya ebirala ebiwoomerera. Nga tetunnatandika kulya, buli omu asaba mu kasirise. Ng’eno bwe tulya, tunyumya ku Switzerland, ensi ya bajjajjaabwe, era batunyumiza ebikwata ku bulamu bwabwe mu kitundu ekyo. Abaana balya ng’eno bwe beekuba obwama era nga bwe basekera mu kimugunyu. Buli omu ng’amaze okulya, baddamu okusaba, era kino kye kiraga nti abaana baba bakkiriziddwa okuva ku lujjuliro—naye si kugenda kuzannya. Buli omu aba n’omulimu ogw’okutegula ebintu ku mmeeza era n’okubyoza, nga kino kitegeeza nti aba alina okusooka okukima amazzi n’okugafumba.
Ng’abaana booza ebintu, abazadde batuyita tubeereko wamu nabo mu ddiiro. Mu ddiiro temuliimu ntebe za mitto, naye tutuula ku butebe obulungi obw’embaawo. Baggyayo Baibuli enkadde eri mu lulimi Olugirimaani okuva mu kabada, era nga bwe kitera okuba mu maka g’Abamisi, mangu ddala tutandika okukubaganya ebirowoozo ku Baibuli. Yakuwa Katonda alina kigendererwa ki eri ensi n’olulyo lw’omuntu? Yesu yali ategeeza ki bwe yagamba nti abawombeefu balisikira ensi? Ddala Katonda anaabonyaabonya abantu ababi emirembe gyonna mu muliro ogutazikira? Baani abagondera ekiragiro kya Yesu eky’okubuulira amawulire amalungi mu nsi yonna etuuliddwamu? Kitusanyusa nnyo okukubaganya ebirowoozo ku bibuuzo bino byonna—n’ebirala bingi—n’abantu abafaayo ku by’omwoyo abalina Baibuli zaabwe.
Kitusanyusa nnyo bwe tujjukira olugendo lwaffe olwo olwalimu ebyewuunyisa ebingi. Tusuubira nti okukyala kwaffe era n’okunyumya n’Abamisi mu lulimi lwabwe kyabasobozesa okufuna okumanya okutuufu okuli mu Kigambo kya Katonda, Baibuli.