Akawala Akalina Omutima Omugabi
GYE buvuddeko awo, akawala ak’emyaka omwenda akabeera mu Brazil kaddira ssente ze kaali keeterekedde ne kazaawulamu emirundi ebiri—doola 18 ne doola 25. Doola 18 kaazisuula mu kasanduuko akali mu Kizimbe ky’Obwakabaka gye kakuŋŋaanira zikozesebwe ku mirimu gy’ekibiina. Doola 25 kaaziweereza ku ofiisi y’ettabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa, nga kuliko n’akabaluwa. Akabaluwa kaali kagamba: “Ssente zino nziwaddeyo ziyambe ku mulimu ogukolebwa mu nsi yonna. Njagala ziyambe ab’oluganda bangi okwetooloola ensi okubuulira amawulire amalungi. Nziwaddeyo olw’okwagala kwange okungi eri Yakuwa.”
Bazadde b’akawala kano baakayigiriza obukulu bw’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka. Era baakayigiriza ‘okussamu Yakuwa ekitiibwa n’ebintu byako eby’omuwendo.’ (Nge. 3:9) Okufaananako akawala ako, ka ffenna tufube okuwagira omulimu gw’Obwakabaka ogukolebwa mu kitundu kyaffe ne mu nsi yonna!