Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Kiki kye tuyiga mu Engero 24:27?
Ng’awa omuvubuka amagezi, omuwandiisi w’Engero agamba nti: “Teekateekanga omulimu gwo ebweru, ogwetegekerenga mu nnimiro; oluvannyuma n’olyoka ozimba ennyumba yo.” Kiki kye tuyiga mu lunyiriri luno? Tuyiga nti omusajja asaanidde okweteekateeka obulungi nga tannaba kuwasa oba kutandika maka, olw’obuvunaanyizibwa obw’amaanyi bw’aba alina okwetikka.
Mu biseera eby’emabega, olunyiriri luno oluusi lwannyonnyolwanga nti omwami era taata ateekwa okukola emirimu gye n’okuzimba ab’omu maka ge mu bintu gamba ng’eby’omwoyo. Wadde ng’ennyinyonnyola eno ntuufu era ng’etuukana n’Ebyawandiikibwa, kirabika mu lunyiriri luno essira liri ku kintu kirala. Lwaki? Lowooza ku nsonga bbiri.
Esooka, mu lunyiriri luno okuzimba tekitegeeza kunyweza ba mu maka omuntu g’aba alina, wabula kitegeeza kuzimba ennyumba yennyini. Ekigambo ekyavvuunulwa “okuzimba” era kiyinza okutegeeza okutandika amaka, kwe kugamba, okuwasa n’okuzaala abaana.
Ey’okubiri, olunyiriri luno lussa essira ku kukola ebintu ng’oyita mu mitendera emituufu, nga lulinga olugamba nti, ”Sooka okole kino; ozzeeko kiri.” Kati olwo olunyiriri luno lutegeeza nti tulina kusooka kukola mirimu gyaffe nga tetunnalowooza ku bwa bya mwoyo? Nedda!
Mu biseera bya Baibuli, omusajja bwe yabanga ayagala ‘okuzimba ennyumba ye,’ kwe kugamba, okuwasa atandike amaka, yalina okusooka okwebuuza nti, ‘Nsobola okulabirira omukyala awamu n’abaana be tuyinza okufuna?’ Nga tannatandika maka, omusajja yalina okukola ennyo n’okulima emmere. Bwe kityo, enkyusa ya Baibuli eyitibwa Today’s English Version egamba nti: “Tozimba nnyumba yo era totandika maka okuggyako nga bye walima bituuse era ng’oli mukakafu nti osobola okweyimirizaawo.” Omusingi guno ne leero gukola?
Yee. Omusajja ayagala okuwasa alina okwetegekera obulungi obuvunaanyizibwa obwo. Bw’aba nga mulamu bulungi, alina okuba ng’akola. Kya lwatu nti omusajja okulabirira ab’omu maka ge tekikoma ku kubawa byetaago bya mubiri byokka. Ekigambo kya Katonda kiraga nti omusajja atafaayo ku ba mu maka ge mu by’omubiri, mu by’omwoyo, ne mu nneewulira zaabwe aba mubi okusinga n’oyo atalina kukkiriza! (1 Tim. 5:8) N’olwekyo, omusajja ayagala okutandika amaka asaanidde okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Nneetegese ekimala okusobola okulabirira amaka mu by’omubiri? Nnaasobola okulabirira ab’omu maka mu by’omwoyo? Nnaasobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa obw’okusoma Baibuli ne mukyala wange era n’abaana bange?’ Ekigambo kya Katonda kiraga nti kikulu okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo.—Ma. 6:6-8; Bef. 6:4.
Bwe kityo omusajja ayagala okuwasa asaanidde okulowooza ennyo ku musingi oguli mu Engero 24:27. Mu ngeri y’emu, omukazi ayagala okufumbirwa asaanidde okwebuuza obanga asobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa ng’omukyala era maama. Omwami n’omukyala abaakafumbiriganwa nabo basaanidde okwebuuza ebibuuzo ng’ebyo nga balowooza ku ky’okuzaala abaana. (Luk. 14:28) Okugoberera obulagirizi ng’obwo kiyamba abantu ba Katonda okwewala ebizibu bingi n’okunyumirwa obulamu bw’amaka.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 12]
Bibuuzo ki ebikwata ku bufumbo omusajja by’asaanidde okwebuuza?