Ensigo z’Amazima Zituuka mu Bitundu Ebyesudde
TUVA erimu ku mawanga agali mu Russia lisangibwa mu bukiika ddyo bwa Siberia, nga mu bukiika ddyo waalyo ne mu buvanjuba eriyo Mongolia. Mu Tuva, abantu bangi nnyo ababeera mu bitundu ebyesudde, era si kyangu kubatuusaako mawulire ga Bwakabaka. Kyokka emabegako, waliwo abantu abaava mu bitundu ng’ebyo ne bajja okwetaba mu musomo ogwali mu kibuga ekikulu, Kyzyl. Kino mwannyinaffe Maria aweereza nga payoniya mu Kyzyl bwe yakiwulira, yalaba ng’ogwo gwali mukisa gwa njawulo okubabuulira amawulire amalungi.
Maria agamba nti: “Essomero mwe nsomesa lyategeka omusomo ogukwata ku kujjanjaba abakozesa ebiragalalagala. Gwali gugenda kwetabwamu abantu nga 50 okuva mu bitundu bya Tuva ebyesudde. Mu bo mwalimu abakugu mu by’endowooza z’abantu, abakola ku by’endabirira y’abaana, abasomesa, n’abalala.” Wadde nga Maria yakiraba nti guno gwali mukisa gwa maanyi okubuulira, okugukozesa tekyali kyangu. Agamba nti: “Nnina ensonyi nnyingi era nzibuwalirwa nnyo okubuulira mbagirawo. Kyokka nnasaba Yakuwa okumpa obuvumu nsobole okukozesa omukisa ogwo okuwa obujulirwa.” Kino yasobola okukikola?
Maria annyonnyola nti: “Nnafuna Awake! eyogera ku kutya ennyo ebintu ebimu. Muli nnagamba nti, ‘omukugu mu by’endowooza z’abantu ajja kunyumirwa okusoma magazini eno,’ era bwe ntyo nnagitwala ku ssomero. Ku olwo, omu ku basomesa abaali mu musomo bwe yajja mu ofiisi yange ne ngimuwa. Yamusanyusa nnyo era yagamba nti yalina ebintu ebimu by’atya ennyo. Enkeera nnamuleetera akatabo Questions Young People Ask—Answers That Work, Omuzingo 1, era nako omukyala oyo yakakkiriza. Kino kyandaga nti osanga n’abasomesa abalala baali baagala akatabo ako. Bwe ntyo nnatwala bbokisi namba, ne ntwalirako n’ebitabo ebirala.” Mu kaseera buseera bbokisi yonna yali eweddemu. Maria agamba nti: “Banne b’omusomesa oli gwe nnali mpadde akatabo Young People Ask bajja mu ofiisi yange ne bambuuza, ‘Wa gye bagabira ebitabo?’” Baali batuuse mu kifo ekituufu!
Olunaku omusomo lwe gwaggwa lwali Lwamukaaga, nga luno lwali lunaku lwa Maria olw’okuwummula. Bw’atyo yateeka ebitabo ne magazini ku mmeeza ezaali mu ofiisi ye, n’ateekako ekiwandiiko ekigamba nti: “Basomesa bannange abaagalwa! Muli ba ddembe okwetwalira ku bitabo bino, n’okutwalirako bannammwe abandyagadde okubisoma. Ebitabo bino bijja kubayamba nnyo mu mulimu gwammwe ne mu maka gammwe.” Kiki ekyavaamu? “Nnagenda okutuukako mu ofiisi yange ku olwo ng’ebitabo ebisinga babitutte, era amangu ago nnaleetayo ebitabo ebirala ne magazini.” Omusomo gwagenda okuggwa nga Maria agabye magazini 380, ebitabo 173, ne brocuwa 34. Abantu abeetaba mu musomo ogwo baddayo n’ebitabo ebyo mu bitundu byabwe gye babeera ne gye bakolera. Maria agamba nti, “Ndi musanyufu nnyo kubanga mmanyi nti kati ensigo z’amazima zituuse mu bitundu bya Tuva ebyesudde!”—Mub. 11:6.
[Mmaapu eri ku lupapula 32]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)
RUSSIA
TUVA REPUBLIC