LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w09 10/1 lup. 5-6
  • 2. Gisome ng’Olina Ekigendererwa Ekirungi

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • 2. Gisome ng’Olina Ekigendererwa Ekirungi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Laba Ebirala
  • Weeyongere Okufuna Okumanya Okutuufu “n’Omwoyo Omwangu”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Abakristaayo Boolesa Ekitiibwa kya Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Ganyulwa mu Bujjuvu mu Kusoma Bayibuli
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Goberera Enkola Eyaweebwa Bakabaka
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 10/1 lup. 5-6

Engeri gy’Oyinza Okutegeera Baibuli

2. Gisome ng’Olina Ekigendererwa Ekirungi

Mukwano gwo yali akugambyeko ekintu ekikyamu ekikwata ku muntu gw’otamanyi? Bwe wasisinkana omuntu oyo, ebyo mukwano gwo bye yakugamba byakulemesa okulaba engeri ennungi n’ebitone omuntu oyo by’alina? Bwe kityo bwe kiyinza okuba bwe kituuka ne ku Baibuli.

OMUTUME Pawulo yalabula ku ekyo ekiyinza okubaawo singa tusoma Baibuli nga tulina ekigendererwa ekikyamu. Ng’ayogera ku bamu ku Bayudaaya abaaliwo mu kiseera kye, Pawulo yagamba nti: “Mbawaako obujulirwa nti banyiikira okuweereza Katonda; naye okunyiikira kwabwe tekwesigamye ku kumanya okutuufu.”​—Abaruumi 10:2.

Abamu ku Bayudaaya ab’omu kyasa ekyasooka baali tebaagala kukkiriza nti Yesu ye yali Masiya wadde nga kino kyali kyeyoleka bulungi mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Ebyo byonna ebyayogerwa ku Masiya mu byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya byali bituukagana bulungi ne Yesu owe Nazaaleesi era yatuukiriza obunnabbi bwonna obwali bumukwatako. Naye endowooza enkyamu gye baalina ku Yesu yalemesa bangi ab’omu kiseera kye okutegeera Ekigambo kya Katonda.

Kiki kye tuyinza okuyigira ku kino? Kikulu nnyo okusoma Baibuli nga tulina ekigendererwa ekirungi. Omuntu bw’aba n’endowooza enkyamu ayinza okulemererwa okutegeera amazima agali mu Baibuli.

Ng’ekyokulabirako, kakensa omu mu by’eddiini mu mambuka ga Carolina, mu Amerika, ayogera ku Baibuli ‘ng’ekitabo ekyawandiikibwa abantu, era ekirimu endowooza zaabwe, era nga nnyingi ku zo zikontana era nga tezisobola kuwa bantu bulagirizi butuufu mu bulamu.’ Singa omuntu asoma Baibuli ng’agitwala ‘ng’ekitabo eky’abantu obuntu,’ teyandibuusizza amaaso emisingi n’obulagirizi ebigirimu by’awulira nti tabyagala?

Okwawukana ku ekyo, Baibuli etukubiriza okunyiikira okugisoma. Nga byogera ku b’e Beroya abaaliwo mu kiseera kya Pawulo, Ebyawandiikibwa bigamba nti: “Bakkiriza mangu ekigambo, era buli lunaku beekenneenyanga n’obwegendereza Ebyawandiikibwa okulaba obanga ebintu ebyo byali bituufu.” (Ebikolwa 17:11) Okufaananako ab’e Beroya, naawe kiyinza okuba nga kikwetaagisa okusoma Baibuli ng’olina ekigendererwa ekirungi osobole okugitegeera. Soma Ekigambo kya Katonda ng’olina ekigendererwa ekirungi, era ng’oyagala nnyo okuvumbula obubaka obusanyusa obw’oyo Nnannyini kuwandiika Baibuli.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza