Kiki Ddala Ekibaawo ng’Omuntu Afudde?
“Emyoyo gyonna tegifa, ka gibe gya babi . . . Gibonerezebwa emirembe gyonna mu muliro ogutasobola kuzikizibwa, era olw’okuba tegifa, okubonaabona kwagyo tekukoma.”—Clement ow’e Alexandria, omuwandiisi w’omu kyasa ekyokubiri n’ekyokusatu E.E.
OKUFAANANAKO Clement, abo abayigiriza nti eriyo omuliro ogutazikira baba bakkiriza nti emmeeme, oba omwoyo tegufa. Naye enjigiriza eno yeesigamiziddwa ku Baibuli? Weetegereze engeri Ekigambo kya Katonda gye kiddamu ebibuuzo bino wammanga.
Adamu, omuntu eyasooka, yalina emmeeme oba omwoyo ogutafa? Baibuli egamba bw’eti ku kutondebwa kwa Adamu: “Mukama Katonda n’abumba omuntu n’enfuufu y’ensi, n’amufuuwamu mu nnyindo omukka ogw’obulamu; omuntu n’afuuka omukka omulamu.” (Olubereberye 2:7) Weetegereze nti okusinziira ku kyawandiikibwa ekyo, Adamu yafuuka omukka omulamu, so teyaweebwa mwoyo.
Adamu bwe yamala okwonoona kiki ekyamutuukako? Ekibonerezo Katonda kye yamuwa tekwali kusuulibwa mu muliro ogutazikira. Baibuli ekyogerako bw’eti: ‘Mu ntuuyo z’omu maaso go mw’onooliiranga emmere, okutuusa lw’olidda mu ttaka; kubanga omwo mwe waggibwa; kubanga oli nfuufu ggwe, ne mu nfuufu mw’olidda.’ (Olubereberye 3:19) Mu bigambo ebyo Katonda bye yayogera temuli na kimu kiragira nti Adamu bwe yafa waliwo ekimu ku bitundu bye ekyawonawo. Adamu bwe yafa, tewaasigalawo mwoyo oba mmeeme, wabula Adamu yaggwerawo ddala.
Waliwo omuntu yenna alina emmeeme oba omwoyo ogutafa? Katonda yagamba nnabbi Ezeekyeri nti: “Emmeeme ekola ekibi ye erifa.” (Ezeekyeri 18:4) Omutume Pawulo yawandiika nti: “Nga ku bw’omuntu omu [Adamu] ekibi bwe kyayingira mu nsi, okufa ne kuyingira olw’ekibi, bwe kityo okufa ne kubuna ku bantu bonna, kubanga bonna baayonoona.” (Abaruumi 5:12) Olw’okuba abantu bonna boonoona, emmeeme zonna oba emyoyo gyonna gifa.
Omuntu bw’afa aba akyategeera oba okubaako ky’awulira? Baibuli egamba nti: “Abalamu bamanyi nga balifa: naye abafu tebaliiko kye bamanyi.” (Omubuulizi 9:5) Ng’eyogera ku kituuka ku muntu afudde, Baibuli egamba nti: “Adda mu ttaka lye; ku lunaku olwo ebirowoozo bye ne bibula.” (Zabbuli 146:4) Okuva bwe kiri nti abafu “tebaliiko kye bamanyi,” nga ‘n’ebirowoozo byabwe bibula,’ olwo ate bayinza batya okubonyaabonyezebwa mu muliro ogutazikira?
Yesu Kristo yalaga nti omuntu bw’afa tabaako ky’amanyi wabula aba ng’eyeebase. (Yokaana 11:11-14) Kyokka abamu bayinza okugamba nti Yesu yayigiriza nti eriyo omuliro ogutazikira, era nti mu muliro ogwo ababi bandisuuliddwa omwo. Ka twetegereze kiki ddala Yesu kye yayogera ku muliro ogutazikira.