Okubuulira mu Katale
BWE yali kibuga Asene, omutume Pawulo yagendanga mu katale buli lunaku okubuulira amawulire amalungi agakwata ku Yesu Kristo. (Bik. 17:17) Pawulo yabuuliranga mu katale kubanga abantu b’omu Asene baabeerangayo nnyo.
Kati nga wayise emyaka nga 2,000, abaweereza ba Yakuwa bakyagenda mu butale okubuulira obubaka bw’Obwakabaka bwa Katonda. Lwaki? Kubanga wabeerayo abantu bangi. Akatale mu kiseera kino kayinza okuba ekifo oba ekizimbe ekinene omuli amaduuka amangi. Abajulirwa abamu basaba olukusa okuva mu balina obuyinza ku bifo ng’ebyo ne bateekawo emmeeza oba akatandaalo ne bateekako ebitabo ebinnyonnyola Baibuli.
Ng’ekyokulabirako, mu kizimbe ekimu ekirimu amadduuka amangi mu ssaza eriyitibwa New Jersey ery’omu Amerika, waateekebwawo emmeeza y’ebitabo ebyogera ku nsonga z’amaka. Biki ebyavaamu? Mu lunaku lumu lwokka, ebitabo 153, mu nnimi mukaaga, byagabibwa.
Omukyala omu eyajja awaali ebitabo yawuliriza bulungi byonna ebyamunnyonnyolebwa omu ku Bajulirwa abaaliwo. Omukyala oyo yakkiriza nti ddala kikulu okukola Katonda by’ayagala mu bulamu bwaffe ne mu maka gaffe. Yatwala ebitabo bino: Ekyama ky’Okufuna Essanyu mu Maka, Learn From the Great Teacher, ne Questions Young People Ask—Answers That Work.
Awo mu ttuntu, omusajja omu yalaba ebitabo ebyo bwe yali agenda okuyingira mu dduuka eririraanyewo. Amaaso ge gaali ku katabo Young People Ask. Mwannyinaffe eyali ku bitabo ebyo yakiraba nti yali alina ky’ayagala. Yamubuuza nti, “Waliwo akatabo akakusanyusizza?” Yakkiriza nga bw’asonga ku katabo Young People Ask. Yali akakunukkiriza, mwannyinaffe n’akaggyayo n’akamuwa. Yagamba nti alina abaana basatu. Yamutegeeza nti akubaganya nabo ebirowoozo omulundi gumu buli wiiki. Ababiri abakulu bali mu myaka gya butiini. Bwe yali ayita mu katabo ako yagamba nti yali asobola okukakozesa mu kukubaganya ebirowoozo n’ab’omu maka ge. Mwannyinaffe era yalaga omusajja oyo akatabo Ekyama ky’Okufuna Essanyu mu Maka, n’amukakasa nti ye ne mukazi we baali bajja kukaganyulwamu nnyo ng’amaka. Omusajja yasiima amagezi agaamuweebwa, yawaayo ssente ez’okuwagira omulimu gwaffe, era yakkiriza wabeewo Omujulirwa abakyalira.
Abajulirwa abo baawulira batya nga bamaze okubuulira mu kizimbe ekyo? Mwannyinaffe omu yagamba nti: “Nze ku lwange nnanyumiddwa nnyo okubuulira mu ngeri eyo. Olunaku luno sigenda kulwelabira!” Mwannyinaffe omulala yagamba nti: “Yakuwa agamba nti amawulire amalungi galina okubuulirwa mu nsi yonna. Leero, amawulire ago amalungi gatuuse ku bantu aboogera ennimi ez’enjawulo mu kitundu kino eky’e Paramus mu New Jersey. Okwenyigira mu kubuulira okw’engeri eno kimpadde essanyu lingi. Ffenna ababadde mu nteekateeka eno tunyumiddwa nnyo. Tewali n’omu ku ffe abadde ayagala lunaku luggweko.”
Osobola okubuulira amawulire amalungi mu ngeri ez’enjawulo? Engeri yaffe enkulu ey’okubuulira kwe kugenda nnyumba ku nnyumba. (Bik. 20:20) Naye, lwaki togezaako kubuulira mu katale oba mu kifo omuli amadduuka amangi?